Minister w’ebyobulamu Dr.Jane Ruth Aceng atongozza enteekateeka y’okutandika okukozesa eddagala ly’empiso eriziyiza akawuka ka siriimu erya Lenacapavir.
Eddagala lino likubwa omuntu okuyita mu mpiso, buli luvannyuma lwa myezi mukaaga okuwa omubiri empavu okuziyiza akawuka okukwata omuntu.
Omukolo gw’okutongoza eddagala lino guyindidde ku ddwaliro ekkulu erye Lira.

Eddagala lino erya Lenacapavir erikubwa mu mpiso, ligattiddwa ku nkola endala eziriwo eziziyiza okusaasaana kwa mukenenya.
Aceng agambye nti abasawo mu malwaliro agawera 103 okwetoloola eggwanga babanguddwa ku nkozesa y’eddagala lino.
Omwaka guno 2026 wegunaggwerako ng’abasawo 300 bebasuubirwa okuba nga banaaba babaguddwa ku nkozesa y’eddagala lino.#












