• Latest
  • Trending
  • All
Ebbago ly’etteeka lya Protection on Sovereignty bill 2026 erigenderera okukuuma obwetengereze bwa Uganda – abaweerezebwa ensimbi okuva ebweru w’eggwanga bakusooka kufuna lukusa okuva mu government

Ebbago ly’etteeka lya Protection on Sovereignty bill 2026 erigenderera okukuuma obwetengereze bwa Uganda – abaweerezebwa ensimbi okuva ebweru w’eggwanga bakusooka kufuna lukusa okuva mu government

April 16, 2026

Obukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka Mutebi II bwava wa Katonda – Obuganda bujaguzza emyaka 33 egy’amatikkirwage ku Watoto Church

July 31, 2026
Yogaayoga Ayi Muzzaηηoma – ku myaka 33 egy’Amatikkirwago

Yogaayoga Ayi Muzzaηηoma – ku myaka 33 egy’Amatikkirwago

July 31, 2026
Auto Draft

Buganda etongozza omwoleso gw’olubugo – abavubuka bakubiriziddwa okwettani okukomaga kulimu ensimbi

July 30, 2026

President Museveni asisinkanye bannamukago aba Bungereza – ayagala basseewo enkolagana ey’okunoonyereza ku by’obujjanjabi n’okukola eddagala

July 30, 2026

Parliament esunsudde Juma Witonze Kisekka – nga minister omuggya ow’ensonga zomunda mu ggwanga

July 30, 2026

Amakula g’amatikkirwa ga Kabaka Mutebi II aga 33 – aba Indo Africa Charitable society bawaddeyo ambulance

July 30, 2026
Obwakabaka bukoze ennoongosereza mu Kitiibwa Kya Buganda – kitukane n’ennyimba ey’ekikugu n’enjatula y’ebigambo entuufu

Obwakabaka bukoze ennoongosereza mu Kitiibwa Kya Buganda – kitukane n’ennyimba ey’ekikugu n’enjatula y’ebigambo entuufu

July 29, 2026
Dr. Kiiza Besigye atendewaliddwa naagwa mu kooti –  Government eyanjudde Omumerica agenda okumulumiriza ne banne mu musango gw’okuluka olukwe okuvuunika government

Dr. Kiiza Besigye atendewaliddwa naagwa mu kooti – Government eyanjudde Omumerica agenda okumulumiriza ne banne mu musango gw’okuluka olukwe okuvuunika government

July 29, 2026
Muwanga Kivumbi agguddwako emisango emirala ebiri – kuliko ogw’okukuma omuliro mu bantu

Muwanga Kivumbi agguddwako emisango emirala ebiri – kuliko ogw’okukuma omuliro mu bantu

July 29, 2026
Akalulu k’okulonda ba ssentebe ba L.C1 aka 2026 – soma ku mivuyo egibaddemu waliwo naabakafiiriddemu

Akalulu k’okulonda ba ssentebe ba L.C1 aka 2026 – soma ku mivuyo egibaddemu waliwo naabakafiiriddemu

July 28, 2026
Uganda tekyalimu kirwadde kya Ebola ekyali kyalangirirwa mu May,2026

Uganda tekyalimu kirwadde kya Ebola ekyali kyalangirirwa mu May,2026

July 28, 2026

Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu atongozza kaweefube w’okunoonya ebyapa by’ettaka ly’ekanisa lyonna mu bitundu bya Rwenzori

July 27, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Ebbago ly’etteeka lya Protection on Sovereignty bill 2026 erigenderera okukuuma obwetengereze bwa Uganda – abaweerezebwa ensimbi okuva ebweru w’eggwanga bakusooka kufuna lukusa okuva mu government

by Namubiru Juliet
April 16, 2026
in Amawulire
0 0
0
Ebbago ly’etteeka lya Protection on Sovereignty bill 2026 erigenderera okukuuma obwetengereze bwa Uganda – abaweerezebwa ensimbi okuva ebweru w’eggwanga bakusooka kufuna lukusa okuva mu government
0
SHARES
58
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Government ya Uganda mu butongole eyanjulidde parliament ebbago ly’etteeka erirambika bannansi okubeera n’omwoyo ogwagala ensi yabwe, okwewala okwenyigira mu bikolwa ebitumbula ebigendererwa by’abagwira, n’okuttattana obwetengereze bw’eggwanga Uganda.
Etteeka lino, government yalituumye the Protection of Sovereignity Bill 2026,  ligendereddwamu okulambika n’okulondoola ensimbi zonna eziyingira eggwanga okuva mu bagwira, okulaba nti tezigenda mu kuvugirira ebikolwa ebitaataaganya obwetengereze bw’eggwanga Uganda.
Government egamba nti egenderera okunyweza obwetengereze bw’eggwanga Uganda okulaba nti tebusekeetererwa bagwira olw’okutuukiriza ebigendererwa byabwe
Mu mbeera eno, ensimbi zonna eziva mu bagwiira okuyita mu bitongole byobwannakyeewa, abantu kinnoomu abayitiddwa ba ‘agents’ babagwira,  government eyagala ezirondoole nnusu ku nnusu, gyeziva, gyeziyita nekyezigenda okukola.
Mu tteeka lino lyerimu, government eyagala okuyita mu kitongole ky’ebyokwerinda n’obutebenkevu bw’eggwanga,  etandike era ewe certificate ba agent babagwiira.
Certificate zino zakulambika ebigendererwa byabwe n’okulondoola emirimu gyebaakola okulaba nti tebasekeeterera bwetengereze bwa Uganda.
Ebbago lino lyanjuddwa mu parliament minister omubeezi ow’ensonga zomunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi.
Sipiika Anita Annet Among alisindise eri obukiiko bwa parliament okuli akalondoola ensonga zomunda mu ggwanga n’ebyokwerrinda saako akakiiko k’amateeka bulyetegereze.
Ebibonerezo;
Ebbago ly’etteeka lino lirambika nti omuntu kinoomu anaatumbula enteekateeka zabagwiira ezittattana n’okukosa obwetengereze bw’eggwanga Uganda wakusibwa emyaka 20 oba okutanzibwa obuwumbi bwa shs 2 (shs 2 billions)
Ate  bwekiba kitongole nga kyekyenyigidde ku bumenyi bw’amateeka buno, kyakutanzibwa obuwumbi bwa shs 4.
Okuwandiika n’okusaasaanya amawulire amakyamu oba agoobulumba ku ggwanga Uganda oba ku government, okubaga n’okussa mu nkola enteekateeka ezirina okukolebwa government  ng’omuntu oyo oba ekitongole tekifunye lukusa okuva eri government,  byonna government eyagala bifuuke misango egiriko ebibonerezo ebikakali
Omuntu akozesebwa abagwira okutaataaganya eby’okulonda by’eggwanga ebyawukana n’okusalawo kwa bannansi wakusibwa emyaka 20 oba okutanzibwa obuwumbi  bwa shs 2.
Songa bwekiba kitongole nga kyekyenyigidde mu kumenya ennyingo eyo kyakutanzibwa obuwumbi bwa shs 4.
Okwenyigira mu nteekateeka ezikottogera ebyenfuna by’eggwanga ekiyitiddwa economic sabotage, government kati egufudde musango, era omuntu anaabyenyigiramu wakusibwa emyaka 20 oba okutanzibwa obuwumbi bwa shs 2, songa bwekiba kitongole nakyo kyakutanzibwa obuwumbi 4.
Bannansi abagala okukola omulimu gwaba agents babagwiira, government yakubawandiisa era ebawe certificates ezirambulula emirimu gyabwe n’emisoso emirala.
Ng’abanaakola obwa agents bwabagwira okutaataaganya obwetengereze bwa Uganda, obutaba na certificate oba olukusa, bakutanzibwa engasi ya kawumbi ka shs kalamba oba okusibwa emyaka 10 oba ebibonerezo byombi.
Ensimbi eziyingira eggwanga nga zifunibwa abantu kinoomu oba ekitongole okukola emirimu gyabagwira nazo ziteekeddwako ekkomo.
Ensimbi ezo eziweerezebwa tezirina  kusukka obukadde bwa shs 400 mu mwaka, okugyako ng’ofunye olukusa okuva eri minister w’ensonga zomunda mu ggwanga.
Okufuna ensimbi ezisukka obukadde 400 mu bbanga ery’omwaka nga tofunye lukusa okuva eri minister, ekibonerezo kyakusibwa emyaka 20 oba okutanzibwa obuwumbi bwa shs 2, songa bwekiba kitongole nga kyekimenye etteeka lino kyakutanzibwa obuwumbi 4
Abagwira be bano aboogerwako mu tteeka;
Mu bbago ly’etteeka lino,  government ennyonyodde abagwira kyekitegeeza okuli; —-Bannauganda abawangaalira ebweru wa Uganda
-Abantu abatali bannauganda
-Amawanga amalala
-Ebitongole by’ebweru wa Uganda
-Amakampuuni g’ebweru wa Uganda
-Ebitebe by’amawanga amalala
Bano bonna bakwatibwa etteeka lino era bwebalimenya ebibonerezo ebyo bibalindiridde.#
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Obukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka Mutebi II bwava wa Katonda – Obuganda bujaguzza emyaka 33 egy’amatikkirwage ku Watoto Church
  • Yogaayoga Ayi Muzzaηηoma – ku myaka 33 egy’Amatikkirwago
  • Buganda etongozza omwoleso gw’olubugo – abavubuka bakubiriziddwa okwettani okukomaga kulimu ensimbi
  • President Museveni asisinkanye bannamukago aba Bungereza – ayagala basseewo enkolagana ey’okunoonyereza ku by’obujjanjabi n’okukola eddagala
  • Parliament esunsudde Juma Witonze Kisekka – nga minister omuggya ow’ensonga zomunda mu ggwanga

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist