Olutalo olw’ebigambo wakati wa sipiika wa parliament Nnaalongo Anitah Annet Among ne minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao lusitudde enkundi, nga buli omu aweereza munne ebigambo ebijiijiira, ttagali yenna ava ku kifo kyobwa sipiika bwa parliament eye 12 kyebavuganyako bombi n’abalala.
Nobert Mao omubaka omulonde owa Laroo -Pece nga ye president wa DP, ekibiina ekirina ababaka 6 bokka mu parliament eyababaka 529, yalangirira nti ayagala ekifo ky’obwa sipiika bwa parliament eye 12, ekirimu Anita Among.
Ne Anita Among naye yalangirira dda nti ekifo kino akyagala okukisigalamu abeere sipiika wa parliament eye 12, aweereze ekisanja ekyokubiri.
Minister Nobert Mao wadde munnaNRM, ssentebbe wa NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yamuyita okwetaba mu lusirika lw’ababaka bannaNRM abalonde, oluyindira e Kyankwanzi ku bbanguliro ly’abakulembeze erya government erya National Leadership institute (NALI).
Ku lunaku lw’olusirika luno olw’okusatu, sipiika wa parliament Anita Among nga yoomu ku babadde ababanguzi ,asinzidde eyo naagamba nti wadde NRM yatta emikago egyasaawo enkolagana n’ebibiina ebirala, tekitegeeza nti endagaano ezaakolebwa zirina kutwala bibiina ebyo okutuuka mu kisenge, wabula birina okubaako webikoma nga mu mbeera eno birina kukoma mu luggya.
Anita Among akkaatiriza nti ekifo kya sipiika mu kiseera kino kyekisenge, ekitalina kuyingibwamu bagenyi olwokuba balina enkolagana ne NRM, era obwedda ayogera ebigambo bye nga ababaka bwebamukubira engalo.
Minister Nobert Mao naye ayise ku kibanja kye ekya X oba Twiiter naayanukula sipiika Anita Among nti ebyobufuzi ebifanaana bwebityo SSI birungi.
Mao agambye nti omukulu w’enju oba ssemaka yeyekka alina obuyinza okusalawo ku muntu ayingira ekisenge kye,naagamba nti ssemaka teyetaaga kwebuuza ku Mwana gweyakatandika okuyola jjo jjuuzi, balina okuyingira munju nebatuuka ne mu kisenge.
Minister Mao ayongeddeko nti omwana bwavuma abagenyi bakitaawe abeera avumye kitaawe yennyini.
Olutalo lw’ebigambo bino lulese bannauganda bangi babinyeenyeza mutwe, nga naabamu bebuuza ekyatutte Nobert Mao mu lusirika olwa NRM.
Waliwo ne ba memba ba DP abemuluginyiza olwa Nobert Mao okwetaba mu lusirika olwa NRM so nga mukulembeze wa kibiina ekiri ku ludda oluvuganya government.
Minister Mao nabo abaanukudde ng’ayita ku kibanja kye ekya X, naabategeeza nti yayitibwa nga minister mu government eri mu buyinza, era ng’Omukulembeze wa DP era nti ssentebbe wa NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yeyamuyita ng’Omugenyi owenjawulo.
Ssemtebe wa NRM era president wa Ugabfa Museveni bweyabadde ayogerako eri ababaka bannaNRM bano abalonde e Kyankwanzi, yagambye nti ensonga yekifo kyobwa sipiika yakwogerwako mu kiseera ekituufu SSI aati.
Wabula olukiiko lwa NRM olw’okuntikko olwa CEC, lwasemba nti sipiika Anita Among n’omumyuuka we Thomas Tayebwa basigaleko era bakubirize parliiament eye 12 ejja.
Ssentebe wa NRM Yoweri Museveni annyonyodde nti olukiiko lwa CEC ssi lwerulonda, ogwalwo gwa kusindiika mannya eri ababaka basalewo gwebaagala era yagambye nti ensonga ezikwata kubwa sipiika wa parliamemrm zakwogerwako mu kiseera ekituufu
Abalala abavuganya ku kifo kya sipiika kuliko Persis Namuganza minister omubeezi ow’ebyettaka, Florence Akiiki Asiimwe omubaka omukyala owa district ye Masindi ,Lydia Wanyoto Mutende omubaka omukyala ow’ekibuga Mbale ne Alion York Adriyo omubaka wa Aringa South.
Ababaka ba parliament eye 12, bakulayizibwa okutandika ng’ennaku zomwezi 13, 14 ne 15 omwezi ogujja ogwa May,2026, era olunaamala okulayizibwa, bakutuula balonde sipiika wa parliament eye 12.#












