Olusirika lw’Abakulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda lukomekkerezeddwa n’okuyisa ennyiingo 6 ezirina okussibwa mu nkola, okusitula omutindo Obwakabaka gwebwagala.
Ennyiingo zino zisiimbye ku kaweefube w’Okuggusa ebiruubirirwa bya Nnamutayiika w’Obwakabaka 2023-2028 anaatera okuggwako.
Ennyiingo eziyisiddwa kuliko Okwetekateeka, Okussa mu nkola, Okulondoola ebikolebwa, Okwekeneenya emirimu nga bwegiba gikolebwa, Okunyweeza ebiba bitambula Obulungi n’Okutereeza ebiba bitatambula bulungi.
Olusirika lw’Omwaka guno 2026 olutambulidde ku mulamwa ogugambye nti Okusitula Omutindo mu buli mbeera mu Buganda.
Luyindidde ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mengo.
Luggaddwawo Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, era naddamu okwebaza abakulembeze mu Bwakabaka olw’ebyo ebituukiddwako , naabasaba okussa mu nkola ebiyisiddwa.
Katikkiro asabye abakulembeze Obutamala gakola n’Obutalowooza nti batuuse, kiwe abavubuka omwagaanya okukola ennyo nabo babeeko webatuuka.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Hajji Prof Twaha Kawaase Kigongo, agambye nti mumativu nti ebikubaganyiziddwako ebirowoozo byakussibwa mu nkola, olw’Obuvumu abakulembeze Ssaabasajja beyalonda bwebalina.
Owek Kawaase ng’ali wamu ne Minister w’Abavubuka , Ebyemizannyo n’Ebitone Ssalongo Richard Sserwanga, balambuludde ku nteekateeka y’Emisinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja agemyaka 71 eginabaawo nga 12 April,2026 mu Lubiri e Mengo, nebeebaza abantu b’Omutanda abaagula Emijoozi.
Katikkiro asinzidde mu Lusirika olwo natongoza Amakubo aganayitwamu abaddusi ba Ssemunywa, nga abadde wamu n’Abebyokwerinda mu Police ne UPDF.
Omwami sa Ssaabasajja Kabaka amukulembererako essaza Buddu Pookino Jude Muleke, yebazizza bakiise banne olw’Ebintu ebikulu ebisomeseddwa, omubadde n’Okwebaza olwa computer ez’omungalo (tablets) ezibaweereddwa ng’abakulembeze okukolerako emirimu gy’Obwakabaka , nga beyambisa tekinologiya.
Bisakiddwa: Kato Denis












