Parliament eyisizza ennoongosereza mu tteeka eriruηamya entambuza ya kkooti ezisookerwako ezimanyiddwanga Magistrate courts, nga munnongosereza eziyisiddwa kkooti zino zongeddwa obuyinza okuwuliriza emisango eminene nekigendererwa eky’okukendeeza ku mujjuzo gw’emisango egyetuuma mu kkooti enkulu.
Munnoongosereza eziyisiddwa kkooti za Chief Magistrate zongeddwa obuyinza okuwuliriza emisango egiweza omutemwa gw’ensimbi obukadde bwa shs 200 okuva ku bukadde 50 gwezibadde.
Kkooti za Grade one magistrate, zongezeddwa obuyinza okuwuliriza emisango egibalirirwamu obukadde bw’ensimbi 100 okuva ku bukadde bwa shs 20.
Government yayanjula eri parliament ennoongosereza zino ng’eyita mu minister wa ssemateeka n’obwenkanya Nobert Mao, n’ekigendererwa eky’okwongeza kkooti zino ezisookerwako obuyinza okuwuliriza emisango emineneko okukendeeza omujjuzo mu kkooti enkulu.
Mu nnoongosereza eyisiddwa, parliament era ekaanyiiza ne government okuggyawo kkooti za Grade two.
Kkooti zino essiga eddamuzi yali yaaliggyawo mpola mpola, wabula mu tteeka eriruηamya entambuza y’emirimu mu kkooti ento erya magistrate courts zibadde zikyalimu, okutuusa parliament lweyisizza ennoongosereza ezigisiimulamu.
Kkooti za Chief Magistrate ziweereddwa obuyinza okusindiika emisango egiba giwawaabiddwa mu kkooti ezo eri kooti endala ezisingako, okugeza nga kkooti enkulu mu kifo kyokugoba obugobi emisango egyo nga bwekibadde kikolebwa.
Parliament bw’ebadde eyisa etteeka lino, ewabudde government ekole ku nteekateeka endala ez’okwongeza kkooti zino obuyinza nazo zitandiike okuwuliriza emisango eminene okuli ettemu n’emirala, okuggyako emisango gy’okulya munsi olukwe n’egy’obuttujju gyegiba gisigala mu kkooti enkulu n’endala.#










