Olukiiko lw’abavubuka Ttabamiruka aba Buganda luggaddwawo n’omulanga eri abakulembeze b’abavubuka Obuteganya buvunanyizibwa bwabaweebwa basobole okuyamba bebakulembera nga babakulakulanya.
Amagezi gano gabaweereddwa minister wa Bavubuka mu Buganda Owek Robert Sserwanga Ssalongo,bwabadde aggalawo Ttabamiruka ono, ayindidde ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka e Mengo.
Lwetabiddwamu bassentebe b’abavubuka ku ssaza ne bassentebe b’ebiibina bya bavubuka mu Buganda.
Owek.Sserwanga era awadde abavubuka amagezi okugoberera amateeka ku buli mutendera omuli aga Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.
Omukiise w’abavubuka mu lukiiko lwa Buagnda olukulu Owek Rashid Lukwago asabye abavubuka okubeera obumu wamu n’okuwaηηana amagezi ku nsonga ezibatwala mu maaso.
Ssenteebe w’olukiko lwa bavubuka mu Buganda olwa Buganda Youth Council Derrick Kavuma asabye government okuwa obwenkanya bavubuka bannabwe abaakwatibwa olw’ensonga z’ebyobufuzi .
Olukiko lwa Bavubuka Ttabamiruka Luyisizza ebiteeso 4 okuli; okweyanza Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll okuwa abavubuka obubaka bwa Eddi obulungi era obulimu ebyokuyiga ebingi gyebali ,Okwetaba mu nteekateeka zonna ezokugyaguza amazaalibwa ga Kabaka ,Okutongoza enteekateeka ya ‘Omuvubuka Yooyoota egombolola’, Abavubuka okukunga abibina bya bavubuka mu masaza okwewandiisa mu Buganda Youth Network, ,Okusaba Government okuta abavubuka abaasibwa ku nsonga z’ebyobufuzi n’abandi okutwalibwa mu mbuga z’amateeka zibalamule.
Bisakiddwa: Nakato Jenniffer









