President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ayisizza ebiragiro ebippya eri ebitongole ebikwatibwako okukakasa obutuuze bw’abantu abali mu Uganda, n’okuweebwa ebiwandiiko ebitongole okuli endagamuntu ne Passport.
President alagidde nti abakadde b’ekitundu balina enkizo mu kusalawo abantu abatuufu abalina okufuna obutuuze bw’eggwanga, kubanga bamanyi bulungi abantu abo okusinga okwesigama ku bitongole bya government ebisinziira e Kampala, byagambye nti byebisinga okuvaako obuvuyo.
Mu kulambika okuggya president kwayisizza mu kiwandiiko kyatadde ku kibanja kye ekya X ekyali kimanyiddwa nga Twiiter, akirambise nti okukakasa n’okwekeneenya obutuuze bw’abantu kulina kusalibwawo ku mutendera gwa government ez’ebitundu so ssi Kampala nga bwekibadde.
Okuyisa ebiragiro bino president abadde ayanukula ensonga zabanyarwanda abali mu ggwanga, abagambibwa nti ebitongole by’eggwanga ebikwatibwako ensonga z’obutuuze, abantu abayingira saako okufuluma eggwanga, byagaana okubawandiisa n’okubawa Passport.
Alagidde nti enteekateeka egenda mu maaso ey’okuzza obuggya endaga muntu z’eggwanga, okwekeneenya n’okusalawo obutuufu bw’obutuuze bw’abantu kulolebwe akakiiko k’ekyalo okuli ssentebe w’ekyalo, ow’omuluka, memba wa ISO saako nomuntu omukulu ku kyalo ekyo.
Mu biragiro ebippya bino, President Museveni agambye nti singa wabaawo omuntu amiddwa omukisa ogwokuweebwa endaga muntu olwokutankanibwa kw’obutuuze bwe, nti ku district wabeewo akakiiko ka district Verification committee.
Akakiiko Kano Museveni agambye nti kakulemberwanga omubaka wa president nga kaliko ba memba abalala okuli ssentebe wa district , kansala w’ekitundu omuntu Alina okwemulugunya gyaava, saako mbega wa government omukulu mu district DISO
Bannansi abaaliwo mu Uganda 1962, Museveni alagidde ensimbi zebabadde basasula okufuna ebiwandiiko ebiboogerako ziveewo, so nga abo abaajja mu Uganda oluvanyuma lw’omwaka 1962 , alagidde basigale nga basasula ebisale byokufuna ebiwandiiko by’obutuuze
Ng’ennaku z’omwezi 23 June,2025, President Museveni agambye nti yaasisinkana Abanyarwanda, Abavandimwe, ebitongole byonna ebikwatibwako ensonga z’obutuuze n’abantu abayingira n’okufulama eggwanga, saako ba minister abatwala ebitongole ebyo nebakaanya ku nsonga zino.#










