Amayumba g’abatuuze agawerako gakutte omuliro ku kyalo Bulange B mu gombolola ye Lubaga mu Kampala,era ebintu byabulindo nabulindo bwa nsimbi biweddewo.
Kiteberezebwa nti omuliro guno gutandise ku saawa nga mukaaga ez’omutundu nga bannyini mayumba bagenze mu masinzizo okusaba, era abaddukirize bebasinze okutaasa ku mbeera.
Abadduukirize bagamba nti omuliro guno ,guvudde ku kintu ekisoose okubwatuka nga kiteeberezebwa okubeera amasanyalaze.
Waliwo omuwala asimatuse okufiira mu nnyumba emu bamuggyemu ng’embeera mbi.
Police ezikiriza omuliro etuuse mu kitundu kino okutaasa, wadde nga basanze ebiwerako bifuuse muyonga.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif











