Abakyala mu mukago ogubata ogwa Uganda Women Network, (UWONET), baagala parliament ne government okuyisa etteeka erirugamya ku ndabirira y’abakyala n’abawala abakola emirimu gyewaka egyisukiridde awatali kusasulwa wadde ekinusu.
Kidiridde okukizuula nti mu Uganda, abakyala bangi bakyamalira obudde bwabwe, mu kukola emirimu ejitavaamu nsimbi wadde okusasulwa, kyebagamba nti kyekiviriddeko n’ebyenfuna n’enkulakulana yabwe okutambulira ddala akasoobo.
Ebiwandiiko biraga nti abakyala bamala obudde bwabwe obuweza ebitundu 15% mu mirimu egyitasasulwa, ssonga abaami obudde bwabwe obukola ebitundu 8% bwokka bwebawa emirimu egyitasasulwa.
Ebiwandiiko era biraga nti buli mukyala mu maka, amala waakiri esaawa 5 n’ekitundu mu mirimu egyitasasulwa buli lunaku sso nga abaami bamala esaawa 3 n’ekitundu zokka mu mirimu egyitasasulwa.
Emirimu jino kuliko okuyonsa, okufumba, okuteekateeka ewaka, okulabirira abalwadde, nebirala, nga kizuliddwa nti ate abaami bamala esaawa 7 n’ekitundu mu mirimu ejisasulwa, ssonga abakyala mu mirimu egyisasulwa bamalayo esaawa 5 n’ekitundu zokka.
Bino bibadde mu lukungaana lw’abakugu abakwatibwako n’ensonga mwebakubaganyirizza ebirowoozo ku buvunanyizibwa buno olwategekeddwa omukago ogutaba abakyala mu ggwanga ogwa Uganda Women Network, (UWONET), ku Golden Tulip Hotel mu Kampala.
Ritah Aciro, ssenkulu womukago guno agamba nti banna Uganda bakaaba emisolo egyisukiridde nga beerabidde nti abantu bangi bebakuumira ewaka abatasasulwa wadde okubayambako ku mirimu.
Kaminsona avunanyizibwa ku bakyala n’abawala mu ministry y’ekikula ky’abantu, Angela Nakafeero, agamba nti keekadde abakyala okukwasizaako batabani baabwe abanatera okufuuka abaami abenkya nga babateekateeka mu buvunanyizibwa obwokuyambako abakyala ewaka, nebwebaba tebabasasudde nsimbi za musaala butereevu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis