• Latest
  • Trending
  • All
Katikkiro Mayiga @11 – amakungula g’Emmwanyi Terimba gawa essuubi

Katikkiro Mayiga @11 – amakungula g’Emmwanyi Terimba gawa essuubi

May 9, 2024
Ba minister 42 abasoose okusunsulwa parliament baweze okutuusa obuweereza obusaanidde eri abantu mu kisanja kino 2026/2031

Ba minister 42 abasoose okusunsulwa parliament baweze okutuusa obuweereza obusaanidde eri abantu mu kisanja kino 2026/2031

June 1, 2026
Paul kafeero

Omuyimbi Paul Job Kafeero eyafa emyaka 19 egiyise – ebisigalira bye biziikuddwa okukakasa endaga luse lw’abaana be

June 1, 2026
Paul kafeero

Government mu butongole eweze okutegeka ebikujjuko by’okukuza ennaku za public holidays okukendeeza ku nsasaanya y’ensimbi

June 1, 2026
Abaganda ababeera e Bungereza bajaguzza emyaka 30 egy’ekitongole kya Kabaka Foundation – Ssabasajja Kabaka abakubirizza okubeera abayiiya mu buli mulimu ogukolebwa

Abaganda ababeera e Bungereza bajaguzza emyaka 30 egy’ekitongole kya Kabaka Foundation – Ssabasajja Kabaka abakubirizza okubeera abayiiya mu buli mulimu ogukolebwa

May 31, 2026
Enkima ne Mamba Kakoboza zesozze fayinolo y’empaka z’ebika by’Abaganda 2026

Enkima ne Mamba Kakoboza zesozze fayinolo y’empaka z’ebika by’Abaganda 2026

May 31, 2026
Abdul Karim Watambala alondeddwa ng’omuzannyi asiinze banne mu Uganda Premier league 2025/2026

Abdul Karim Watambala alondeddwa ng’omuzannyi asiinze banne mu Uganda Premier league 2025/2026

May 30, 2026
Supreme Court Upholds Death Sentence in Child Murder Case – committed in 2007 after a domestic dispute

Supreme Court Upholds Death Sentence in Child Murder Case – committed in 2007 after a domestic dispute

May 30, 2026
UNEB erabudde amasomero agaduumuula ebisale by’okuwandiisa abayizi abagenda okutuula ebigezo bya UNEB – abakikola boolekedde okuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka

UNEB erabudde amasomero agaduumuula ebisale by’okuwandiisa abayizi abagenda okutuula ebigezo bya UNEB – abakikola boolekedde okuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka

May 29, 2026
Akakiiko ka Anti Corruption Unit katandise okunoonyereza ku nguzi egambibwa okwetobeka mu by’okuddaabiriza Camera zokunguudo – abakungu ba government 3 balagiddwa okuddako ebbali banoonyerezebweko

Empaka z’omupiira ogw’Ebika by’Abaganda 2026 zituuse ku mutendera gwa Semifayinolo – Engo esisinkanye Nkima ate Emmamba Kakoboza ezannya Kkobe

Empaka z’omupiira ogw’Ebika by’Abaganda 2026 zituuse ku mutendera gwa Semifayinolo – Engo esisinkanye Nkima ate Emmamba Kakoboza ezannya Kkobe

May 29, 2026
Parliament eye 12 eyisizza ekiteeso ekikakasa Jesca Alupo ku kifo ky’omumyuka wa president ne Ssaabaminister Robinah Nabbanja – akakiiko akagenda okusunsula ba minister abalala nako parliament ekakasizza

May 28, 2026
Katikkiro Mayiga aggaddewo Ttabamiruka w’abakyala ba Buganda 2026 – essira lissiddwa kukutandikawo n’okuziimba business ez’omuziinzi

Katikkiro Mayiga aggaddewo Ttabamiruka w’abakyala ba Buganda 2026 – essira lissiddwa kukutandikawo n’okuziimba business ez’omuziinzi

May 28, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Uncategorized

Katikkiro Mayiga @11 – amakungula g’Emmwanyi Terimba gawa essuubi

by Namubiru Juliet
May 9, 2024
in Uncategorized
0 0
0
Katikkiro Mayiga @11 – amakungula g’Emmwanyi Terimba gawa essuubi
0
SHARES
259
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’akwasa Katikkiro Charles Pater Mayiga , Ddamula amulamulireko Obuganda

Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okuwa amagezi eri abantu bonna naddala abavubuka abalinawo ku ttaka webalimira okulinyweeza nga balimirako ebintu ebiwangaazi mu kifo ky’Okulisalamu poloti balitunde Obulere.

Ezimu ku nteekateeka ezikoleddwa okuyambako abantu okuteeka kino mu nkola kwekubakubiriza okusimba emmwanyi mu nkola eyatuumibwa Emmwaanyi Terimba.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’aweza emyaka 11 okuva Ssaabasajja lweyamukwasa Ddamula mu 2013, zezimu ku nteekateeka zeyenyumirizaamu, zagamba nti zitandikidde ddala okukyusa obulamu bw’abantu.

Mu mwaka gwa 2017 lweyatongoza  Emmwaanyi Terimba, era abantu abaafaayo okutandika nayo ebyenfuna byabwe byongedde okulinnya.

Azze akubiriza  abavubuka bave mu kukuba olwali ku buli nsonga egwawo, wabula banyweeze ettaka lyebalina, oba okulyeyazika n’okulipangisa ekiseera ekigere bongere okusimba Emwaanyi kuba zezigenda okubatuusa mu Bukadde nga balinawo ku nsimbi.

Mu ngeri yeemu Obwakabaka busobodde okuteekawo Emmerezo z’Emmwaanyi enteketeeke obulungi, ezigenda okuyambako abalimi okufuna endokwa ez’Embala.

Abalimi b’emmwaanyi abaasooka okufuna endokwa z’emmwaanyi okuva mu nteekateeka y’Obwakabaka eya Mmwaanyi Terimba mu 2017, baatandika okufuna amakungula agasooka mu mwaka 2019.

Katikkiro Mayiga yali alambula abalimi b’emmwanyi ku bizinga e Ssese

Amakungula bwegeeyongera okuva mu 2020, essira Katikkiro yalissa kukunnyikiza  ensonga y’okukuuma Omutindo, era naasaba abalimi nti Emmwaanyi ezengedde nga mmyufu bulungi zebaba banoga zokka eza kiragala bazeesonyiwe.

Werutuukidde olwa leero nga Emmwaanyi ezirimiddwa wansi wa Mwaanyi Terimba zikwaasa Ensaalwa abo abaalagajjala nebatasimba, ekiwalirizza Obwakabaka okweekubira enduulu eri abakwaasisa amateeka okukangavvula bonna abasangibwa nga beenyigidde mu bubbi bw’Emmwaanyi.

Kaawa ow’omutindo ava mu mmwanyi zino okuli Kaawa Mpologoma ne CBS Pewosa kaawa bye bimu ku bika ebivudde mu mmwanyi Terimba.

Kaawa Mpologoma

Mu kiseera kino kampuni y’Obwakabaka eya Mmwaanyi Terimba yatandika okugula emmwanyi ez’omutindo okuva ku balimi, era nezitunda mu mawanga g’ebweru eky’ongedde okuwa essuubi nti zakwongera  ku nsimbi Obwakabaka bwa Buganda bweziyinziza, ate ne ggwanga lyonna Uganda okutwalira awamu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga nga yemiisa ka Kaawa

Emmwanyi zino zitundibwa mu Russia ne Dubai mu United Arab Emirates era abaayo baatandika dda okuwoomerwa ka kaawa akava mu mmwanyi za kuno n’okukolamu ebintu eby’omugaso nkumu, nga zitwalibwayo kkampuni yeemu eya Mwanyi Terimba Limited.

Olugendo lw’Entekateeka ya Mwaanyi Terimba Katikkiro alutambudde ne ministry z’Ebyobulimi ,Obulunzi, Obuvubi n’Obwegassi ekulemberwa Owek Hajji Hamis Kakomo, ekitongole ki Uganda coffee Development Authority , BUCADEF ekitongolee kya ssabasajja eky’Ebyobulimi, ekyabangula abalimisa 18 nekibateeka mu masaza ga Beene gonna okulondoola ebyobulimi.#

Bikungaanyiziddwa: Kato Denis

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ba minister 42 abasoose okusunsulwa parliament baweze okutuusa obuweereza obusaanidde eri abantu mu kisanja kino 2026/2031
  • Omuyimbi Paul Job Kafeero eyafa emyaka 19 egiyise – ebisigalira bye biziikuddwa okukakasa endaga luse lw’abaana be
  • Government mu butongole eweze okutegeka ebikujjuko by’okukuza ennaku za public holidays okukendeeza ku nsasaanya y’ensimbi
  • Abaganda ababeera e Bungereza bajaguzza emyaka 30 egy’ekitongole kya Kabaka Foundation – Ssabasajja Kabaka abakubirizza okubeera abayiiya mu buli mulimu ogukolebwa
  • Enkima ne Mamba Kakoboza zesozze fayinolo y’empaka z’ebika by’Abaganda 2026

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist