Kooti enkulu mu Kampqla ekalize abasajja 2 ku bibonerezo byakusibwa emyaka 80, okuvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okutemula omuvuzi wa bodaboda, n’okubba pikipiki ye.
John Bosco Mugisha eyeyita Kaihura ne Aloysious Tamale eyeyita Young Mulo, baweereddwa bulyomu ekibonerezo kyakusibwa emyaka 40 ku musango gw’obutemu, n’emyaka 40 ku musango gw’okubbisa eryanyi, omugatte gy’emyaka 80 buli omu.
Abasajja bano bagenze okubasalira ekibonerezo eky’emyaka 80, nga balina n’ekibonerezo ekirala eky’emyaka 70 ekyasooka okubaweebwa, era nga nakyo emisango egy’abasiinga gyali gyabutemu.
Kati omugatte ekibonerezo kyabwe buli omu kiweza emyaka 150 gyalina okusibwa mu nkomyo.
Omusango ogwakabasalirwa ogubaweereddwako emyaka 80, baaguzza nga 29 May,2019 bwebaatemulq omugoba wa bodaboda mu Kanisa Zone, Makindye Zone mu Kampala.
Oludda oluwaabi lwategeeza nti ababiri bano baapangisa omugoba wa bodaboda okumpi ne Makindye Primary School, wabula bwebaatuuka ewaziyivu mu Kanisa Zone nebamwefuulira nebamukuba ku mutwe nebamutta, olwo nebakuliita ne pikipiki ye.
Omulamuzi Alex Ajiji Mackay agambye nti abatemu bano tebalina kudda mu bantu, kwekubawa ekibonerezo ky’emyaka 80, gigattibwe ku 70 gyebaasooka okuweebwa babeerere ddala mu kkomera.
Bisakiddwa: Betty Zziwa











