• Latest
  • Trending
  • All
Yiino e𝝶𝝶onge – ensajja tesuulirira baana baayo

Yiino e𝝶𝝶onge – ensajja tesuulirira baana baayo

May 27, 2022
Ssaabawandiisi wa CAF, Veron Mosengo-Omba alekulidde

Ssaabawandiisi wa CAF, Veron Mosengo-Omba alekulidde

March 29, 2026
Kings College Budo ejaguzza emyaka 120 okuva weryatandikibwawo – omu ku bawala abaasooka okulisomeramu Norah Namakula Muyinda alina emyaka 104

Kings College Budo ejaguzza emyaka 120 okuva weryatandikibwawo – omu ku bawala abaasooka okulisomeramu Norah Namakula Muyinda alina emyaka 104

March 29, 2026
Okukuza wiiki entukuvu 2026 – abakkiriza basabiddwa okwekuba mu kifuba bakomye ebikolwa eby’okulumya abalala

Okukuza wiiki entukuvu 2026 – abakkiriza basabiddwa okwekuba mu kifuba bakomye ebikolwa eby’okulumya abalala

March 29, 2026
Katikkiro Mayiga alambise ba ssenkulu b’ebitongole bya Buganda mu nkola ya ‘Situla Omutindo’ – babadde mu nsisinkano yabwe eya buli mwaka

Katikkiro Mayiga alambise ba ssenkulu b’ebitongole bya Buganda mu nkola ya ‘Situla Omutindo’ – babadde mu nsisinkano yabwe eya buli mwaka

March 27, 2026
Aba Islamic  Relief- Netherlands ne Hear Uganda badduukiridde abatuuze b’e Bukomansimbi – babawadde obuliri okusitula eby’obulamu

Aba Islamic  Relief- Netherlands ne Hear Uganda badduukiridde abatuuze b’e Bukomansimbi – babawadde obuliri okusitula eby’obulamu

March 27, 2026
Parliament eyisizza ennoongesereza z’etteeka eriruηamya emirimu gya kooti ezisookerwako – zikkiriziddwa okuwulira emisango egituuka mu bukadde bwa shs 200

Parliament eyisizza ennoongesereza z’etteeka eriruηamya emirimu gya kooti ezisookerwako – zikkiriziddwa okuwulira emisango egituuka mu bukadde bwa shs 200

March 27, 2026
Ekisaawe kya Akii Bua Olympic Stadium kitandise okuserekebwa – minister Ogwanga asuubuzza nti kyakukozesebwa mu AFCON 2027

Ekisaawe kya Akii Bua Olympic Stadium kitandise okuserekebwa – minister Ogwanga asuubuzza nti kyakukozesebwa mu AFCON 2027

March 27, 2026
Emmotoka etwala abayizi ku ssomero etegulukuse neyingirira amaka ga ssentebe w’e Kisala mu Bukomansimbi – abayizi bakoseddwa

Emmotoka etwala abayizi ku ssomero etegulukuse neyingirira amaka ga ssentebe w’e Kisala mu Bukomansimbi – abayizi bakoseddwa

March 27, 2026
Kabaka Birthday Run 2026 – nga 12 April jangu tudduke

Kabaka Birthday Run 2026 – nga 12 April jangu tudduke

March 26, 2026

Ttabamiruka w’abavubuka ba Buganda owa 2026 aggaddwawo – baliko ebiteeso byebayisizza omuli n’okusaba government eyiimbule bavubuka bannaabwe abaasibwa olw’ebyobufuzi

March 25, 2026
UNEB efulumizza obukwakkulizo obulina okugobererwa abayizi abaagwa ebibuuzo bya S.4 mu 2024 ne 2025 – balina okuddamu okusoma babikole omwaka guno 2026

UNEB efulumizza obukwakkulizo obulina okugobererwa abayizi abaagwa ebibuuzo bya S.4 mu 2024 ne 2025 – balina okuddamu okusoma babikole omwaka guno 2026

March 25, 2026

Omwoleso gwa Taste Of Uganda Agro-Trade Exhibition 2026 gutongozeddwa gwakubeera Bungereza -okusitula akatale k’ebyamaguzi bya Uganda eby’obulimi n’obulunzi

March 24, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Nature

Yiino e𝝶𝝶onge – ensajja tesuulirira baana baayo

by Namubiru Juliet
May 27, 2022
in Nature
0 0
0
Yiino e𝝶𝝶onge – ensajja tesuulirira baana baayo
0
SHARES
415
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bwetwogera ku nsolo kafulu mukuwuga , tolemwa kwogera  ku 𝝶𝝶onge mu lungereza gyebayita Otter .

E𝝶𝝶onge ebeera mu mazzi.

Wano mu Buganda e 𝝶𝝶onge muziro, akabbiro kayitibwa Kaneene bwombi busolo busangibwa mu nnyanja.

Omutaka owákasolya kékika kye 𝝶𝝶onge ye Kisolo e Bweza Busujju era yewali obutaka.

Abé𝝶𝝶onge balina emibala ebiri; – Ddala ddala bweza Lutaaya bweza, Ssenkungu bweza Kitumba bweza- byaddalu byaddalu bi Nakiwala byaddalu.

Omubala omulala guvuga nti: Ddala ddala bweza, Lutaaya bweza, Ssenkungu bweza, Kitumba bweza- Lwajjali lwajjali, mwegali mwegali, abakyanjankete, be ppo ddogo, bwegaliba amafumu tuligendana-bi Nakiwala byaddulu.

Ba Nalutaaya, Lutaaya, Najjemba, Nakiganda , Muganga, Namuganga, Gwokyalya, Ssenkungu,Ssembatya, Nambatya, Nakiwala beddira 𝝶𝝶onge.

Omulimu gwabe 𝝶𝝶onge omukulu mu Lubiri, kukomaga nókulabirira Kabaka mu byókunywa, era kyekibogeza nti mwegali mwegali (mu ndeku), babeera bogera ku mazzi.

Buli mwaka mu kisaawe ky’obutonde bw’ensi, olunaku lw’E 𝝶𝝶onge lukuzibwa, lutuuka  buli lw’akusatu olusembayo mu mwezi ogwa May buli mwaka.

Ekigendererwa kyókukuza olunaku luno kwekwefumiitiriza ku bulamu bwé 𝝶𝝶onge bwezibeeramu, okuli amazzi gémigga nénnyanja, nga singa gakalira e 𝝶𝝶onge nazo zibeera mu matigga.

E𝝶𝝶onge erimu ebika 13 okwetoloola ensi yonna.

Wano ku lukalu lwa Africa kuliko ebika bina byokka, ate mu Uganda  mulimu ebika 3 okuli; “African Clawless Otter,  Congo Clawless Otter ne Spotted Necked Otter’’.

Ngógyeko e𝝶𝝶onge okumanyibwa okuba nóbukugu mu kuwuga, e 𝝶𝝶onge era y’ensolo esinga okuba n’obwoya ebungi ku mubiri gwayo,  naddala ekika ky’ e𝝶𝝶onge ekiwangalira mu gayanja aganene – Sea Otters.

Ebyoya bino tebiganya mazzi kutuuka ku lususu lwa 𝝶𝝶onge yadde ebeera nnyo mu mazzi.

E 𝝶𝝶onge kisolo ekinyumirwa obulamu obw’okubeera obw’omu, wabula mu biseera byókunoonya emmere byegatta mu bibinja ekibyanguyizaako okukwata ebyennyanja naddala ekiro.

Thembo Johnson Puruka omusomesa ku nsonga z’obutonde bw’ensi ku Uganda Wildlife Conservation Education Center – Entebbe zoo, agamba nti okwefaananyirizaako n’abantu kyebagamba nti okuwuga kubalumya enjala,né 𝝶𝝶onge nazo zirumwa nnyo enjala olwébiseera byazo ebisinga okubeera nga ziwuga.

E 𝝶𝝶onge erya byannyanja kwegattiriza,ebikere, ebiwuka ebibeera  mu mazzi  n’obusolo obutonotono saako ebinyonyi.

E 𝝶𝝶onge olwókuba zaagala okubeera obwomu,  ensajja  n’enkazi okubeerako awamu ebbanga eddene ekigendererwa kiba ky’akuzaala.

Ensajja olumala okuwakisa enkazi ngébulawo, okuddamu  okulabikako ng’omwana oba abaana baayo (tetera kusukka basatu) bawezezza emyezi 5.

Ekisinga okugikomyawo kw’ekuyambako mu kukuza abaana ng’ebayiggira n’okubawa emmere.

Abaana b’e 𝝶𝝶onge bazaalibwa tebalaba   bazibula luvanyuma, ate nebatandika okuwuga nga bawezezza wiiki 8.

Omuwendo omutuufu ogw’ e𝝶𝝶onge tegumayiddwa, wabula ekitongole ekirondoola omuwendo gw’ensolo munsi yonna  ki International Union of Conservation Nature, kiraga nti zongedde okukendeera mu bungi, naddala mu bitundu obutonde omuli ennyanja , emigga n’entobazi gyebyonooneddwa.

Bisakiddwa: Diana Kibuuka

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabawandiisi wa CAF, Veron Mosengo-Omba alekulidde
  • Kings College Budo ejaguzza emyaka 120 okuva weryatandikibwawo – omu ku bawala abaasooka okulisomeramu Norah Namakula Muyinda alina emyaka 104
  • Okukuza wiiki entukuvu 2026 – abakkiriza basabiddwa okwekuba mu kifuba bakomye ebikolwa eby’okulumya abalala
  • Katikkiro Mayiga alambise ba ssenkulu b’ebitongole bya Buganda mu nkola ya ‘Situla Omutindo’ – babadde mu nsisinkano yabwe eya buli mwaka
  • Aba Islamic  Relief- Netherlands ne Hear Uganda badduukiridde abatuuze b’e Bukomansimbi – babawadde obuliri okusitula eby’obulamu

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist