• Latest
  • Trending
  • All
Katikkiro Mayiga mu myaka omwenda abadde akyusa ndowooza – bingi byeyenyumirizaamu

Katikkiro Mayiga mu myaka omwenda abadde akyusa ndowooza – bingi byeyenyumirizaamu

May 12, 2022
Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda

Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda

May 11, 2026
Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda

Abadde Commissoner wa parliament Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza abantu b’e Masaka olw’okumwesiga emyaka 15 ng’abakiikirira mu parliament

May 11, 2026
Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira

Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira

May 10, 2026

Abantu 6 bafiiridde mu kabenje akagudde e Gomba

May 9, 2026
Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa

Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa

May 8, 2026
Electoral Commission erangiridde olwa nga 24 June,2026 okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district y’e Kalangala

Electoral Commission erangiridde olwa nga 24 June,2026 okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district y’e Kalangala

May 8, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Abaluηηamya b’emikolo balambikiddwa ku ntambuza y’emikolo gy’ennono – bakomye katemba mu mikolo gy’okwanjula

May 7, 2026

Emipiira gy’empaka z’ebika by’Abaganda zongezeddwayo

May 7, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

May 7, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Bus ya kampuni ya Link ekutte omuliro neebengeya ku luguudo lw’e Mityana – abasaabaze basimattuse

May 7, 2026

Omwoleso gwa CBS PEWOSA 2026 – okuva nga 8 okutuuka nga 14 June mu Lubiri e Mengo

May 7, 2026
Abayizi ababadde bagenda okulambula bafunye akabenje e Kiryandongo – conductor wa Bus afiiriddewo

Abayizi ababadde bagenda okulambula bafunye akabenje e Kiryandongo – conductor wa Bus afiiriddewo

May 7, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Katikkiro Mayiga mu myaka omwenda abadde akyusa ndowooza – bingi byeyenyumirizaamu

by Namubiru Juliet
May 12, 2022
in Amawulire, BUGANDA, Uncategorized
0 0
0
Katikkiro Mayiga mu myaka omwenda abadde akyusa ndowooza – bingi byeyenyumirizaamu
0
SHARES
243
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’akwasa Katikkiro Charles Peter Mayiga e Ddamula(13.may.2013)

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akinogaanyizza nti kati amaanyi  agenda kugassa mu kutema mpenda ez’okukola ebintu ebyenjawulo ebizza Buganda ku ntikko.

Katikkiro agambye nti emyaka omwenda egiyise gibadde gyakukyusa mbeera z’abantu okubagazisa Kabaka wabwe, nokwerwanako ng’abantu kinnomu.

Awadde eky’okulabirako nti omulimu gubadde gwakuzimba birowoozo,abantu ebirowoozo babifunye n’obusobozi babulina,kati ssaawa yakufuna sente n’okwongera okuzisiga.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwa leero lwawezezza emyaka 9 bweddu, bukyanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II amulonda nga 12.5.2013.

Nga 29.5.2013 Ssaabasajja yasiima n’akwasa Katikkiro Mayiga Ddamula okumulamulirako Obuganda.

Omukolo gwali ku Wankaaki wÓlubiri e Mengo ,nóluvannyuma náyolekera Butikkiro ngákutte Ddamula.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yadda mu bigere bya eyali Katikkiro John Baptist Walusimbi.

Katikkiro Mayiga okuva olwo yasookera mu masinzizo agatali gamu okwekwasa Omutonzi mu byonna byazze akola,  era azze asaba Katonda amulungamye mu buweereza bwaliko.

Mu myaka gino omwenda atambudde nómulamwa gwókukulembeza obwerufu nókukkaatiriza empagi eyÓbwesimbu mu buweereza obwenjawulo.

Mu kutandika emirimugye Katikkiro yateeka essira kukusomesa nókunnyonyola abantu ba Buganda ensonga ssemasonga eza Buganda omuli;
1-Okunyweza nÓkukuuma Namulondo.
2-Okugabana Obuyinza ne government eya Wakati mu Nkola eya Federo.
3-Okukuuma Ettaka n’Ensalo za Buganda yonna gye ziyita.
4- Okukola ennyo Obutaweera.
5-Obumu.

Mu nsonga ssemasonga mwemuva enteekateeka Namutaayiika ezóbwakabaka bwa Buganda, ezirambika kalonda wébintu byonna ebirina okukolebwa.

Namutayiika eyasooka owémyaka etaano egyasooka wa 2013-2018, addako wa 2018-2023 asigaddeko omwaka gumu gwokka agweko.

Katikkiro Mayiga yatongoza enkola eyatuumwa ETTOFAALI mu masaza ga Buganda nébitundu ebirala, okwongera okwagazisa abantu KABAKA wabwe, ne Buganda yonna okutwalira awamu.
Enkola yÉttoffaali yavaamu ebibala ebirabika nébitalabika.

Ekizimbe Masengere ekyali kimaze emyaka egisoba mu 30 kyamalirizibwa mu nkola yéttofaali.

Ettoffaali lyerimu lyasima omusingi okwazimbibwa Terefayina yÓbwakabaka BBS, era wano abavubuka nábakadde abasukka mu 1000 bayimiriddewo ku Terefayina.

Katikkiro mu ngeri yeemu yatongoza enkola ya Luwalo lwange abantu ba Ssabasajja okuva mu masaza agenjawulo mwebayise okukiika embuga , okusonda ensimbi eziyambako okuddukanya emirimu gya Beene egitali gimu, nÓkwongera okwagaza abaganda ebyabwe, nókwekkiririzaamu.

Mu kiseera kyekimu ekyémyaka mwenda, Katikkiro Mayiga akoze butaweera okuzzaawo Amasiro gaaba Ssekabaka e Kasubi, era werutuukidde olwa leero nga omulimu gwokuzzawo amasiro gano ogukulemberwa Owek Kaddu Kiberu  gutambula bulungi ddala, era Omwaka guno gasuubirwa okugibwako engalo.

Mu bbanga lyerimu ery’emyaka omwenda , Katikkiro atadde mu nkola ekiragiro kya Beene ekyókuyamba abantu abetaaga okubeerwa nebazimbirwa ennyumba.

Ngóbwakabaka bukolegana nékitongole kya Nakyewa ki Habitat for Humanity, buzimbidde abantu abasukka mu 20 ennyumba ezomulembe.

Mu kusitula embeera zébyenfuna zábantu okulwanyisa obwavu, Katikkiro  yatongoza enkola ya Mmwanyi Terimba mu Buganda, okusobozesa abantu okwerwanako nókweyimirizaawo.

Mu nkola eya Bulungi bwansi Katikkiro azze ejjukiza abantu ba Buganda okusimba  emiti nga bayita mu mikolo egyenjawulo naddala egyókwanujula, okutaasa Buganda ne Uganda yonna okufuuka eddungu.

Bwábadde awayaamu ne CBS, Katikkiro Mayiga yebazizza obuwagizi bwonna obumuweereddwa Olulyo olulangira, abakulembeze b’eddiini, abataka ab’Obusolya, abakozi  bóbwakabaka, abakulembeze bébyóbufuzi, abasuubuzi n’abantu kinoomu mu bbanga eryemyaka omwenda gyeyakamala ngákuuma Ddamula.

“Tewali nteekateeka yonna gyetwali tutandise netawagirwa, kale siyinza butebaza bantu ba Buganda” Katikkiro.

Katikkiro yebazizza abantu ba Buganda okusalawo okwegyamu endowooza y’okuweebwa nebatandika okwekolerera, nga bayita mu kulima emmwanyi, okulima emmere okulwanyisa enjala, n’okulunda okwegobako obwavu.

“essuubi lyange lyonna lyali mu kiragiro kya Ssaabasajja Kabaka kyeyatulagira, okusomesa abantu okuyiga okwekkiririzaamu n’okukomya okwenyooma, okwerwanako nga bakola ebintu ebibayamba okulwanyisa obwavu,baleme kulinda kuwebwa buwebwa, byonna tubikoze”.

Mukuumaddamula Mayiga agambye nti n’enteekateeka y’okuzimba enkola y’emirimu erambikiddwa obulungi, kimuyambye nnyo mu myaka gino omwenda nga ye Kamalabyonna wa Buganda.

Mu ngeri yeemu Katikkiro agambye nti ng’obukulembeze obulala bwonna webubeera n’okusomoozebwa, naye akufunye. Wabula agambye nti tayagala kwesiba kubisomooza era tayagala kubiwa budde,wabula okutema empenda ezibivuunuka n’okugenda mu maaso.

Wabula anokoddeyo ensonga y’ettaka ng’ebimu ku bimusomoozezza.

Alabudde abakulembeze abakola amateeka aganyigiriza Buganda nti bali mu kabi kennyini ,naasaba ebizze bibaawo ku bakulembeze abaasooka abaayisa amateeka amakyamu, n’okunyaga ettala lya lyabwo bibeere ekyokuyiga eri abakyali abalamu.

Katikkiro Mayiga agambye nti nebwebuliba ddi, Buganda yakweddiza ebintu byayo ebizze binyagibwa bannakigwanyizi.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda
  • Abadde Commissoner wa parliament Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza abantu b’e Masaka olw’okumwesiga emyaka 15 ng’abakiikirira mu parliament
  • Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira
  • Abantu 6 bafiiridde mu kabenje akagudde e Gomba
  • Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist