• Latest
  • Trending
  • All

Government efulumizza alipoota ku nfa yábadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah

April 5, 2022
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

May 20, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

May 20, 2025
Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

May 20, 2025
Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

May 20, 2025
Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

May 20, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Government efulumizza alipoota ku nfa yábadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah

by Namubiru Juliet
April 5, 2022
in Amawulire, News
0 0
0
0
SHARES
208
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 

 

Sipiika Anita Among, nómumyuka we Thomas Tayebwa, omumyuka wómukulembeze wéggwanga Jesca Alupo ne ssamanisiter wéggwanga Robinah Nabbanja nábabaka ba parliament nga baaniriza omubiri gwéyali sipiika Jacob Oulanyah

Government efulumizza alipoota ekwata ku bulwadde nénfa y’eyali sipiika wa parliament eye 11 Jacob Oulanyah, eraze nti yafudde kirwadde kya kkookoolo, amaze  akabanga ngámutawaanya okuva mu mwaka 2019.

Alipoota eno ekwata ku nfa y’omugenzi essomeddwa minister w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng mu parliament etudde leero okukungubagira omugenzi.

Minister Aceng ategezezza nti obulwadde bwa Jacob Oulanya bwatandika mu mwaka 2019, oluvanyuma lwokufuna ekizimba mu bulago, era nágenda e German nebakirongoosa nebamutegeeza nti yali alina kkookolo.

Okuva olwo Jacob Oulanyah yagendanga mu malwaliro agenjawulo, wabula mu biseera by’omuggalo ogwaleetebwa Covid 19 n’akalulu ka 2021,teyasobola kugenda mu ddwaliro kwongera kumukebera nakumujanjaba.

Minister anyonyodde nti mu January  2021, baamutwala mu ddwaliro e Mulago erijanjaba kkookolo, era eno yalina okumalayo wiiki bbiri.

Baalina okumuteekateeka basobole okumutwala mu mwaliro amalala agebweru wa Uganda, oluvanyuma lwokumukebera mu byuma ebyenjawulo ebikalirira kkookolo,nebizuula nti yali asaasaanidde  amagumba ge ngátuuse ne mu busomyo.

Minister wébyóbulamu Dr. Jane Ruth Aceng ngásomera parliament alipoota ekwata ku nfa ya Jacob Oulanyah

Minister Aceng agambye nti baali bakola ku nteekateeka ezokumusaamu obussimu obupya mu mubiri, okumuwonya okumukaliriranga olutatadde, okumalamu obutofaali  obwali buliiriddwa kkookoolo.

Abasawo 15 abaakulemberwamu ssenkulu w’eddwaliro lya Kkookolo e Mulago Dr Jackson Oryem, baakola butaweera okumujanjaba mu kiseera bweyali e Mulago.

Okusinziira ku Dr Jane Ruth Aceng, omugenzi bweyatwalibwa mu America, abantu 5 bebaamugenderako okwali Patricia Lakidi, Christine Aol abaali bamulabirira, abakuumi be saako Dr Jackson Oryem.

Okusinziira ku Dr Aceng, omugenzi bweyatuuka mu ddwaliro mu America, baddamu okumwekebejja, nebazuula nti obusomyo bwe, bwali buliiriddwa kumpi kubumalawo.

Obutonotono obwali busigaddewo, bwali tebukyasobola kuzaala buttofaali bw’omubiri obulwanyisa endwadde okuli White blood cells ne red blood cells.

Minister Aceng ategezezza nti  embeera eno yaviirako ebitundu byómubiri gwe okuli ekibumba,ensigo,nébirala okutandika okusirika kimu ku kimu nga tebikyakola,kkyo ekibumba kyasirika akyali wano mu Uganda.

Agambye nti bweyatuusibwa mu America, nti wadde obujanjabi bwaliyo era nga yali wakubufuna, wabula baali tebayinza kubumusaako, olwómubiri ogwali gwongedde okunafuwa.

Bagezaako okulaba nga guddamu amaanyi wabula nebigaana, era oluvannyuma nómutima negusirika.

Minister Aceng anyonyodde nti omugenzi abadde talina kalulwe, akasaale mu kukola obutofaali bw’omubiri obulwanyisa endwadde, nti   kubanga kaali kaamujjibwamu mu mwaka gwa 1990, oluvannyuma lwóbuvune bweyafuna  abakuuma ddembe bwebaamukuba, ngábayizi békalakaasa ku University e Makerere.

Rebecca Alitwala Kadaga eyaliko sipiika wa parliament eye 10, nga Oulanyah yali mumyuka we, agambye nti obulwadde bwa Oulanyah yabumanyako mu mwaka 2019, bweyali amunoonya ng’aliko ensonga zamwebuzaako, kwekuzuula nti yali alongooseddwa.

Bweyakimanya yategeeza omukulembeze w’eggwanga embeera ya Oulanyah bweyali eyimiridde.

Kadaga asabye palament nti mukujjukira omugenzi, government eteekese mu nkola etteeka erikuuma obwannanyini ku biyiiye, omugenzi lyeyabaga ngómubaka mu mwaka gwa 2006.

Omumyuka wa President Retired Maj. Jessica Alupo, agambye nti obukugu Jacob Oulanyah bwabadde nabwo ku nsonga z’amateeka, obukulembeze n’entambuza y’emirimu nti ssi bwangu kusangika.

Alupo agambye nti government egenda kumusubwa nti kubanga ne mu kalulu kómwaka oguyise 2021, Oulanyah yakola butaweera okununula ekitundu ky’obukiiko kkono okudda mu mikono gya NRM, nti kubanga kyali kimaze emyaka egisoba mu 10 nga NRM tekiwangula.

Ababaka ba parliament abenjawulo baweereddwa omukisa okwogera ebirungi byebabadde bamanyi ku sipiika Jacob Oulanyah.

Omubiri gwa Oulanyah gugenda kusuzibwa mu parliament okutuusa olunaku lwénkya ku lwókusatu lwegunaggibwayo gutwalibwe mu kisaawe e Kololo, eggwanga okumukungubagira mu butongole nókumusabira.

Ssanduuko omuli omubiri gwa Jacob Oulanyah nga yetoloozeddwa ebimuli mu parliament

Okusinziira ku nteekateeka eyafulumizibwa minister wóbwa president era ssentebe wókuziika Milly Babalanda, omubiri gwa Oulanyah olunaggibwa e Kololo gusuubirwa okuteekebwa ku nnyonyi butereevu, gutwalibwe e Omoro gyágenda okuziikibwa ku lwókutaano nga 08 April,2022.

Jacob Oulanyah yazaalibw anga 23 march,1965 naafa nga  20th march,2022.

Yayingira parliament mu 2006, mu 2011 nafuuka omumyuka wa sipiika, mu 2021 nálondebwa ku kifo kya sipiika.

Ababaka ba parliament bamwogeddeko ngómuntu abadde omukulembeze omulungi, afaayo ku nsonga ezigasiza awamu eggwanga sso ssi ye ngómuntu.

Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathius Mpuuga agambye nti obukulembeze bwa Oulanyah, bwali bubawadde essuubi ngáboludda oluvuganya government okutambulira awamu ku nsonga ezikosa eggwanga.

Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathius Mpuuga ngáteeka ekimuli ku ssanduuko omugalamiziddwa omubiri gwa Jacob Oulanyah

Mu kukubaganya ebirowoozo, ababaka baaweereddwa eddakiika bbiri, wabula wabaddewo abayombye nti obudde obubawereddwa butono okwogera ku Oulanyah, wabula bano Thomas Tayebwa abaanukudde nti obudde obubaweereddwa bumala.

Omubaka wa Kilak South Gilbert Oulanya bwaweereddwa omukisa okwogera ku mugenzi awakanyizza alipoota ku nfa y’omugenzi, goverment gyewadde nti yafudde kkookoolo.

Gilbert Oualanyah agambye nti ye tagikkirizza wadde,  naagamba nti kuba abantu okuva mu Acholi abazze basuumuka mu bifo by’okulembeze byéggwanga lino ebyenjawulo nti baze bafa mu ngeri eriko ebibuuzo.

Wabula  Thomas Tayebwa omumyuka wa sipiika alabudde omubaka Gilbert Oulanyah nti aleme kusamwasamwa n’ebigambo ebyawukana ne alipoota ewereddwa government.

Thomas Tayebwa alagidde nti ebigambo bya Gilbert bisiimulwe ku biwandiiko bya parliament.

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi
  • Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo
  • Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima
  • Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga
  • Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -