Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka addukidde mu kkooti ensukkulumu okuwakanya ekya Kkooti etaputa semateeka okusazaamu ebyakolebwa Parliament bweyaggyamu obwesigr mu mubaka wa Mityana Municipality Francis Zaake nemugoba ku kifo kya Commissioner wa parliament.
Abalamuzi ba kkooti etaputa semateeka 4 ku 5 okuli; Irene Mulyagonja, Eva Luswata, Muzamiru Kibedi ne Oscar Kihika bakkiriziganyizza nebalangirira nti enteekateeka yonna eyayitibwamu Parliament okugoba Zzaake yamenya semateeka.
Wabula omulamuzi Catherine Bamugemereire bwannamunigina yagobye omusango lwakubulwa bujulizi ku nsonga eyo.
Abalamuzi baalagidde sipiika wa parliament Anita Annet Among aliyirire Zaake ekitundu ky’ensimbi zeyasaasanyizza mu musango guno nga kuliko amagoba ga kitundu 1%.
Ssabawolereza wa government asindise Munnamateeka Elisha Bafiirawala okuteekayo okumanyisa mu kkooti ensukkulumu, nti tebaamatidde na nsala ya kkooti nolwekyo bagenda kujulira mu kiseera ekitali kyewala.
Zaake yagobwa kubwa Commissioner bwa parliament nga 10th March, 2022, ng’ababaka baamulanga okusiiwuuka empisa n’alengezza sipiika wa parliament Anita Among nti ng’ayita ku mutimbagano.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam