Nampala wa FDC omuggya mu parliament nga ye mubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi agambye nti obuvunanyizibwa bwayolekedde kwekugatta enjuyi eziggugulana mu kibiina kino, n’ekigendererwa eky’okuzza ekibiina mu kkubo ettuufu.
Ekiwayi mu kibiina kino ekikulemberwa Eng. Patrick Oboi Amuriat president wa FDc ne Nathan Nandala Mafabi Ssaabawandiisi w’ekibiina kigobye abadde Nampala wa FDC mu parliament era omubaka wa Kira municipality nekimusikiza Yusuf Nsibambi.
Omubaka Yusuf Nsibambi mukwogerako eri abamawulire ku parliament ,asoose kwewaana nti wakati ng’abakulu mu kibiina bagugulana ,ye tabadde naludda waagwa kyagambye nti kimuwa enkizo eyamaanyi okwogerezeganya n’enjuzi ezigugulana okuzza ekibiina mu kubbo ettuufu.
Yusuf Nsibambi agambye nti obuvunanyizibwa bwattikiddwa ssi bwangu wabula wakubukola , naagamba nti obukugu obukola omulimu ogumuweereddwa abulina.
Nsibambi wabula agambye nti yadde abakulu mu FDC bamulonze mu kino, naye waliwo ensobi nnyingi nnyo abamulonze zaalaba zebaakola era taggya kutya kubagambako.#