Ssentebe w’ekibiina kya FDC Ambassador Wasswa Biriggwa bamugaanye okuyingira mu kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi n’emmotoka.
Abakuuma ku kitebe bamutegeezezza nti emmotoka agireke ebweru, naye ky’akkiriza n’agisimba wabweru w’ekikomera n’ayingira mu kitebe ng’atambuza bigere.
Wasswa Biriggwa abadde yayise olukungaana lwa bannamawulire okutangaaza ku ndoliito ezigenda mu maaso mu kibiina kya FDC, ezavuddeko n’abamu ku bannakibiina okulumiriza president wabwe Patrick Amuriat ne ssaabawandiisi Nathan Nandala Mafaabi okuveera mu lukwe lw’okutunda ekibiina eri NRM.
Babalumiriza nti mu kalulu ka 2021, government ya NRM yapokera Amuriat obuwumbi bwa shs 7 okwesimbawo ku bwa president, wabula yabyegaanye.
Bannamawulire ababadde bagenze ne Wasswa Biriggwa nabo babagaanye okuyingira mu kitebe kya FDC bakonkomalidde ku mulyango.
Kigambibwa nti Biriggwa bw’ayingidde munda mu kitebe ky’ekibiina asanzeeyo abantu abamuwambiddeyo, nebamugaana okubaako ekintu kyonna kyakola.
Nga wayiseewo akaseera,waliwo abavubuka abafubutuse munda mu kitebe kya FDC nebatandika okukuba bannamawulire enguumi n’ensamba ggere, babatuusizzaako ebisago, n’okubanyagako essimu zabwe.
Police etuuse embeere egenda edda mu nteeko era emazeewo akaseera katono neddayo gy’evudde.#