Abantu abatawaanyizibwa ekirwadde ekimanyiddwa nga Vitiligo, ekikuba olususu lwabwe nerufaanana ng’abayokeddwa abalongo, bakuzizza olunaku lw’okwefuumiitiriza ku kukusoomozebwa kwebayitamu.
Olunaku kwa World Vitiligo day lukuzibwa mu nsi yonna buki nga 25 June.
Wano mu Uganda abantu abagambibwa okuba nti baayokebwa abalongo okw’ensusu zabwe okufuna amagondogondi nga begattira mu kibiina ekya, Vitiligo Association of Uganda bagamba nti ekizibu ky’ekirwadde kino, tekirina ddagala lya nkalakkalira libawonya.
Bagamba nti ebizigo byebakozesa okwekuumira mu mbeera ey’omusana byabuseere, basosolwa sso nga n’abamu balowoozebwa okuba nti baali baagala kweyerusa olwokuba nti olususu lwabwe lukyuka nerufanako nga olwa bannamagoye.
Mu nsisinkano gyebabaddemu mu katale e Kamokya, mu kukuza olunaku lwabwe, ssenkulu w’ekibiina ekya Vitiligo Association of Uganda, Eva Atukunda ne ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’ekitongole, Najjuka Vivian bagambye nti basanga obuzibu bw’okwejanjabisa olw’eddagala ezzibu okufuna naddala ebizigo bya Sun Screen okuba eby’ebbeeyi.
Bagamba nti kyokka n’oluusi ebyo byebaba bafunye biba bicupule, nga ekikebe ekimu ekitandikirwako kiri ku shs emitwalo 10 n’okudda waggulu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis