
Club ya Vipers eya Uganda Premier yesozze oluzannya olwa semifinals mu mpaka za Uganda Cup.
Vipers ekubye Wakiso Giants goolo 3-1 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Goolo za Vipers ziteebeddwa Yunus Sentamu eteebyeko goolo 2 ne Bobosi Byaruhanga atebyeko goolo 1.
Goolo ya Wakiso Giants eteebeddwa Sam Ssenyonjo olwo Vipers neyegatta ku club ya Booma eyayisewo olunaku lweggulo.