Club ya Vipers eyongedde okwenywereza ku ntikko ya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, ekubye club ya Mbarara City goolo 2-0.
Omupiira guno guzanyidwa mu kisaawe kye Kakyeka Mbarara.
Goolo eziwadde Vipers obuwanguzi ziteebeddwa Yiga Najib ne Milton Kariisa.
Vipers kati ekulembedde liigi eno nóbubonero 52.
Mungeri yeemu KCCA ekubye UPDF goolo 3-0 mu kisaawe e Bombo, zino zitebeddwa abazannyi Sadat Anaku, Brian Aheebwa neyakyeteeba eya Danato Okello.
Kati KCCA eri mu kifo kyakubiri nóbubonero 45.
Ate mu mpaka za University Football League, Uganda Christian University etandise nabuwanguzi bw’ekubye Victoria University goolo 2-0 ku UCU e Mukono.
UCU bebanantamegwa ba season eyasembayo mu 2019.
Goolo ezibawadde obuwanguzi ziteebeddwa abazannyi Sekandi Enoch ne Isaac Ofoyrwoth.
Empaka zino eza Uganda Premier League zigenda kuddamu enkya nómupiira gumu,nga IUIU egenda kuttunka ne Busitema.