Club ya Vipers esitukidde mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League season ya 2022/23, oluvanyuma lw’okukuba club ya Busoga United goolo 5-0 mu kisaawe e Kitende.
Vipers ekikopo kino ekiwangulidde kunjawulo ya goolo 27, oluvanyuma lw’okusibagana ne KCCA ekutte ekifo eky’okubiri ku bubonero 53 buli omu, nga KCCA ebadde n’enjawulo ya goolo 19.
Liigi eno wetukidde kunkomerero yaayo, nga Villa Jogo Ssalongo yebadde esinga emikisa egy’okuwangula ekikopo kyokka kusaawa envanyuma ekikopo ekisudde bw’ekubiddwa URA goolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku.
KCCA mu kisaawe e Lugogo nayo ekubye Bright Stars goolo 5-0 nga Rogers Mato atebyeeko goolo 4 omuntu omu,ne Charles Lwanga atebyeko goolo 1.
Emipiira emirala egizannyiddwa, Onduparaka ekubye UPDF goolo 4-1 e Bombo, Maroons ne BUL bakoze amaliri ga 0-0 e Luzira.
Black Powers ekubye Express mukwano gwabangi goolo 3-1 e Lira ate nga Arua Hill ekubye Wakiso Giants mu kisaawe kya Barifa Stadium mu Arua.
Arua Hill ekutte ekifo kya 4 n’obubonero 44, URA kya 5 n’obubonero 42, Maroons ekutte kya 6 n’obubonero 41, BUL kya 7 n’obubonero 36,.
Bright Stars ekutte kya 8 n’obubonero 36, Bright Stars kya 9 n’obubonero 36, Express ekutte kya 10 n’obubonero 34, Gaddafi kya 11 n’obubonero 31.
Busoga United kya 12 n’obubonero 28, UPDF ekutte kya 13 n’obubonero 27, Blacks Power kya 14 n’obubonero 26 ate nga Onduparaka yesembye n’obubonero 22.
Vipers ewangudde ekikopo kino omulundi gwayo ogw’omukaaga era egenda kukiikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Champions League season ejja.
Onduparaka ne Blacks Power zisaliddwako okuddayo mu kibinja kyawansi ekya FUFA Big League.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe