
Bya Issah Kimbugwe
Club ya Vipers eyongedde okutangaaza emikisa gyayo egy’okuwangula liigi ya babinywera eya Uganda Premier League season eno.
Vipers fc ekubye club ya Gaddafi goolo 2-0 mu kisaawe e Kitende, ziteebeddwa Ceaser Manzoki.
Obuwanguzi buno bwongedde okutekawo enjawulo ennene ddala wakati wa Vipers ekulembedde liigi eno ne KCCA eri mu kifo eky’okubiri.
Vipers kati esinga KCCA obubonero 14.
KCCA olwaleero eremaganye ne BUL goolo 1-1 n’erinnya ku bubonero 47 ate nga Vipers ewezezza obubonero 61.
Kati Vipers ne KCCA basigazza emipiira 5 buli omu okuggalawo liigi eno.
Omupiira omulala oguzanyiddwa Bright Stars ekubye Wakiso Giants goolo 1-0 mu kisaawe e Kavumba.
Ebyo nga biri bityo, egimu ku mipiira egizanyidwa mu mpaka z’amasomero ga senior ez’omupiira ogw’ebigere eza National Post Primary Championships eziyindira mu Arua, Kibuli SS ekubye Arenge SS goolo 5-0.
St Mary’s Kitende ekubye Dynamic SS goolo 3-0.
Lake Side eremaganye ne Mpigi Mixed goolo 1-1.
Kotido SS ekubye Mukono Kings 1-0.
Standard High Zana ekubye St Benedict goolo 1-0.
Ngora High ekubye Tororo SS goolo 1-0.
Royal Giant Mityana ekubye Ibanda goolo 1-0.