Club ya Vipers egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, eronze munnansi wa Brazil Leonardo Martins Neiva ng’omutendesi omuggya owa club eno.
Leonardo Neiva ayanjuliddwa abawagizi ba Vipers ku kisaawe kya club eno ekya St Mary’s e Kitende, era atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2 nga atendeka Vipers.
Leo Neiva myaka 45 egyóbukulu azze mu bigere bya Alex Isabirye eyasuddewo omulimu guno gyebuvuddeko, ng’alumiriza abakulu ku club eno okuyingirira emirimu gye ewatali kusooka ku mwebuzaako.
Neiva afuuse munnansi wa Brazil owókusatu okutendeka club ya Vipers, abaasooka ye Beto Bianchi ne Roberto Oliviera.
Sizoni ewedde Vipers yawangudde ekikopo kya Uganda Premier League ne Uganda Cup.
Vipers egenda kukiikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Champions League sizoni ejja, ng’ewedde yakiika mu mpaka zino kyokka néwandukira ku mutendera gwébibinja.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe