Club ya Vipers FC mu butongole ekwasiddwa ekikopo kya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League 2021/22.
Omukolo gw’okukwasa Vipers ekikopo gubadde mu maka gaayo aga St Mary’s Kitende, president wa FUFA Eng Moses Magogo nga ali wamu n’omumyukawe ogw’okusatu Florence Nakiwala ne president wa Vipers, Dr Lawrence Mulindwa, bebakwasizza aba Vipers ekikopo.
Vipers nga tenakwasibwa kikopo esoose kukuba club ya Police goolo 5 – 0 mu mupiira ogugaddewo liigi ya season eno.
Vipers ewangudde ekikopo ku bubonero 74, esinzeko KCCA ekutte ekifo eky’okubiri obubonero 18.

Mungeri yeemu nga omupiira wakati wa police ne Vipers nga guwedde, FUFA esiimye omuzannyi wa Uganda Cranes, Tonny Mawejje olw’ebirungi byakoledde omupiira.
Tonny Mawajje olunaku olwa leero annyuse omupiira mu butongole.
Mu ddakiika ey’omukaaga mu mupiira gwa Vipers ne Police nga gugenda mu maaso, guyimiriziddwamu okujjukira n’okusiima Tonny Mawejje.
Bonna ababade mu kisaawe bayimiridde mu kaseera ako nebamukubira mu ngalo.
Emipiira emirala egigaddewo sizoni eno, Wakiso Giants ekubye KCCA goolo 1 – 0.
BUL ekubye Villa Jogo Salongo goolo 1 – 0.
Busoga United ekubiddwa Gaddafi goolo 2 – 1.
Arua Hill ekubye Express FCgoolo 1 – 0.
Bright Stars ekubye Mbarara City goolo 2 – 0.
URA ekubye Tooro United goolo 7 – 0.
Onduparaka ekubye UPDF goolo 2-1 .
Vipers oluvannyuma lw’okuwangula liigi eno egenda kukiikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Champions league sizoni ejja.