Club ya Vipers eya Uganda Premier League efuumudde omutendesi waayo munnansi wa Brazil Bianchi Beto, olwómutindo gwe okuba ogwékiboggwe.
Bianchi Beto taweezza wadde emyezi ebiri mu club eno, kubanga yayanjulwa ku mulimu guno nga 10 January omwaka guno, 2023.
Agenze okugobwa nga Vipers yakamala okukubwa club ya Simba eya Tanzania goolo 1-0 mu kibuga Dar el Salaam mu mpaka za CAF Champions League, ekyayongedde okusanyalaza emikisa gya club eno egy’okuva mu kibinja.
Okumanya ebintu bibadde bibi eri omutendesi ono, atendese Vipers emipiira 7 kyokka tawanguddeko mupiira gwonna wadde okuteebamu goolo.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe