Bya Issah Kimbugwe
Club ya Vipers esitukidde mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League season eno 2021/2022.
Vipers ekubye Express FC mukwano gwabangi goolo 3 – 0.
Yunus Ssentamu atebyeeko goolo 2, endala eteebeddwa Bright Anukan.
Kakaano Vipers ewezezza ebikopo bya uganda premier league 5.
Yawangula ekya 2010, 2015,2017/18 , 2019/20,2022.
Vipers ewangudde ekikopo n’obubonero 64, esinga KCCA eri mu kifo eky’okubiri obubonero 14.
Mu mipiira emirala KCCA ekubye Tooro united 2 – 0.
URA ekubye UPDF 1 – 0
Wabulayo kati emipiira 4 liigi eggalewo.