Club ya Villa Jogo Ssalongo ekubye club ya Gaddafi goolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku, n’eyongera okugoba obuufu bwa club ezikulembedde liigi eno.
Goolo ewadde Villa Jogo Ssalongo obuwanguzi eteebeddwa Ivan Bogere mu dakiika eya 54, nga kati Villa Jogo egenze mu kifo kya 5 n’obubonero 19 ate Gaddafi esigadde mu kifo kya 9 n’obubonero 13.
Omupiira omulala oguzannyiddwa Vipers esudde obubonero 2 bwegudde amaliri ne Maroons goolo 1-1 mu kisaawe e Luzira.
Goolo ya Maroons etebeddwa muyizzi tasubwa Fred Amaku ate eya Vipers eteebeddwa captain Milton Kaliisa.
Vipers esigadde yakubiri n’obubonero 24 ate Maroons ya 6 n’obubonero 19.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe