Bya Issah Kimbugwe
Omuzannyi wa ttiimu yéggwanga eya Uganda Cranes, Abdul Lumala yegasse ku club ya SC Villa Jogo Salongo egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League.
Lumala endagaano gyebamuwadde ekoma ku nkomerero ya sizoni eno.
Olukiiko lwa FUFA olwókuntijko gyebuvuddeko lwayisa etteeka erikkiriza club za Uganda Premier League, okukansa abazannyi abatasuka 3 wonna webeera eyagalidde mu sizoni ng’etambula,singa babeera tebalina club club yonna gyazannyira.
Villa Jogo Salongo lino etteeka lyeyeyambisizza okukansa Abdul Lumala.
Abadde naye talina club yonna gyazannyira okuva lweyava mu club ya Pyramids eye Misiri.
Abdul Lumala okusinga erinnya yalikolera mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2019 ezaali e Misiri.
Club ya Pyramids eyo gyeyamulabira nemugula, yava mu club ya Kalmar eya Sweden.
Abdul Lumala weyegattidde ku Villa Jogo Salongo agisanze mu kifo kya 12 nóbubonero 25 okuva mu mipiira 23.