Club ya Villa Jogo Ssalongo etandise okwesunga okwetikka ekikopo kya Uganda Premier League season ya 2022/23 bw’ewangudde club ya Black Power goolo 1-0.
Omupiira guno guzannyidDwa mu kisaawe e Wankuluku nga goolo ya Villa Jogo eteebeddwa muyizzi tasubwa Charles Bbaale.
Obuwanguzi buno buzizaayo Villa Jogo Ssalongo ku ntikko ya liigi eno n’obubonero 52 ate nga club endala bwezivuganya ku kikopo kya season eno okuli Vipers ne KCCA zikoze maliri.
Vipers egudde maliri ga goolo 1-1 ne BUL mu mupiira oguzannyidwa mu kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru, ate nga KCCA egudde maliri ga 0-0 ne Busoga United mu kisaawe e Kakindu Jinja.
Vipers kati egenze mu kifo kyakubiri n’obubonero 50 ate nga ne KCCA kati eri mu kifo kyakusatu n’obubonero 50, mu kiseera nga club zonna zisigaza omupiira gumu okuggalawo liigi eno.
Mu mipiira emirala, Arua Hill erumbye Bright Stars mu kisaawe e Kavumba n’egikubirayo goolo 1-0, URA ekubye Gadaffi goolo 4-0 mu kisaawe kya Metha e Lugazi, era omuteebi Bruno Bunyaga eyakava mu mpaka za masaza ga Buganda eteebye goolo ye esooka mu mujoozi gwa URA.
Kakaano club okuli Onduparaka ne Black Power ze club ezisaliddwako okuddayo mu kibinja kyawansi ekya FUFA Big League.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe