Abafumbo mu kigo kya St.Balikuddembe Buloba bajaguzza olunaku lw’abagalana mu ngeri ey’enjawulo, nebakubirizibwa okufissangayo akadde akawera okubeera n’abagalwa babwe.
Ku lunaku luno babadde n’emissa ey’okwezza obujja ekuyimbiddwa Rev.Fr.Paul Ssembogga.
Bategese n’ekijjulo ekibaddeko okulya n’okunywa, wamu n’okwegabira ebirabo.#