• Latest
  • Trending
  • All
UWEC etubidde n’Enkula Kabira ne Sherino ezikyalemereddwa okuzaala – waliwo ebigambibwa nti zirowooza zerinako oluganda

UWEC etubidde n’Enkula Kabira ne Sherino ezikyalemereddwa okuzaala – waliwo ebigambibwa nti zirowooza zerinako oluganda

July 10, 2024

Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150

August 17, 2026

NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi

August 17, 2026

Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026

August 16, 2026
Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

August 15, 2026
Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu  1954 – 2026

Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu 1954 – 2026

August 15, 2026
Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

August 14, 2026
Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa  ku kkomera e Kyegegwa

Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa ku kkomera e Kyegegwa

August 14, 2026
Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

August 14, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

August 13, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Omuyimbi Vinka ekiise embuga naayanjulira Katikkiro Mayiga ekivvulu kye – ekiriwo nga 21 August,2026 ku Cricket Oval

August 13, 2026
Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

August 13, 2026
CECAFA ekkiriza Rwanda okuddamu okutegeka empaka za CECAFA Kagame Cup emyaka emirala ebiri –  2027 ne 2028

CECAFA ekkiriza Rwanda okuddamu okutegeka empaka za CECAFA Kagame Cup emyaka emirala ebiri – 2027 ne 2028

August 13, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Nature

UWEC etubidde n’Enkula Kabira ne Sherino ezikyalemereddwa okuzaala – waliwo ebigambibwa nti zirowooza zerinako oluganda

by Namubiru Juliet
July 10, 2024
in Nature
0 0
0
UWEC etubidde n’Enkula Kabira ne Sherino ezikyalemereddwa okuzaala – waliwo ebigambibwa nti zirowooza zerinako oluganda
0
SHARES
170
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ekitongole ky’eggwanga ki Uganda Wildlife Education Center ekyayitibwanga Entebbe zoo, kitubudde n’enkula bbiri ezaalemererwa okuzaala wadde ekitongole kino kizisaasaanyaako ensimbi mpitirivu okuzirabirira

Dr James Mucunguzi akulira ekitongole kino asinzidde mu kakiiko ka parliament aka COSASE naagamba nti nabo ensonga z’enkula zino obutazaala zaabasobera dda, nti kubanga bazirabiridde bulungi mu mbeera zonna ezizisobozesa okuzaala.

Dr. James Mucunguzi agambye nti bingi ebinoonyerezeddwako n’ebikoleddwa okulaba ng’Enkula zino zizaala wabula bikyagaanye.

Enkula zino zaaletebwa mu mwaka 2001, nga kuliko enkazi eyitibwa Kabira n’ensajja eyitibwa Sherino.

Enkula  zombi ez’ekika kya White Rhinos zaagyibwa Kenya mu Solio Ranch, n’ekigendelerwa eky’okwongera ku bungi bwazo wano mu Uganda.

Mu kiseera kino nga wetwogelera mu ttale lya Uganda teri yadde Nkula n’emu.

Eziriwo mu Uganda zisangibwa mu Zziwa Rhino Sanctuary e Nakasongola ng’eno  kati waliyo Enkula 41 , nga zino zize zizaala okuviira ddala mu mwaka 2006 ekifo kino wekyatandikirawo nga kyalimu enkula 6 zokka.

Okusinziira ku Dr. Watuwa James omusawo ku Uganda Wildlife Authority agamba nti bakyanoonyereza okuzuula ekikyaganye eza ezikuumibwa mu Zoo e Ntebbe okuzaala.

Wabula waliwo okuteebereza nti Enkula zino olwokuba nti zikuze zonna okuviira ddala nga ntono, emu yalina omwaka gumu endala emyaka 2,  z’andiba nga zetwaala nga ezoluganda yadde sibweguli .

Ebyo nga bukyali bityo, ekitongole kino era kyeralikirivu olw’omuwendo gw’empologoma ogukenderedde ddala mu ggwanga, era kigamba nti singa tewabaawo kikolebwa ekyamangu, amakuumiro ga Uganda ag’ebisolo gandiggwamu empologoma.

Dr.Rachel Mbabazi agambye nti abantu bayigga empologoma zino nebazitta, abalala baziwa obutwa songa endala zaasengukira mu ggwanga lya South Sudan.

Ekitongole kino ki UWEC gyebuvuddeko kyasaba obuwumbi 10 okuzaazisa n’ekulabirira empologoma 16 okwetoloola amakuumiro agatali gamu, ekyaaleetawo okukubagana empawa mu bannansi nga bagamba nti ensimbi nnyingi.

Dr. Rachel Mbabazi avunanyizibwa ku mpologoma mu kitongole kino ki UWEC agambye nti okuva bannansi lwebaatabuka ku nsonga y’obuwumbi 10 ezokuzaazisa empologoma zino,bazze batuukirira ebitongole ebikwatibwako okusalira awamu amagezi.

Ssentebe w’akakiiko ka COSASE Owek.Medard Lubega Sseggona abalagidde okwongera okunoonyereza amagezi ag’enkomeredde aganaayamba okutaasa empologoma za Uganda, wamu n’okuyamba enkula eziri e Entebbe okuzaala.

Ebifaananyi: Diana Kibuuka

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150
  • NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi
  • Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026
  • Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1
  • Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu 1954 – 2026

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist