Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsolo zoomunsiko mu ggwanga ki Uganda Wildlife Authority kitadde omukono ku ndagaano ne kampuni bbiri okuli eya Tiang Tang Group ne Wildplaces Africa, okuzimba ebisulo ebipya ebigenda okusulwamu abalambuzi.
Mu ndagano eno Kampuni ya Wildplaces Africa egenda kuzimba ebisulo galikwooleka 24 mu kkuumiro ly’ebisoro erya Murchison Falls National Park, Katole ne Kyambura wildlife Reserve.
Kampuni ya Tian Tang yakuzimba ekizimbe kyabisulo 44 e Kulunyang, mu kkuumiro lyebisoro erya Marchison Falls National Park.
Bwabadde assa omukono ku ndagaano ne kampuni zino ku kitebe kya UWA mu Kampala, minister w’ebyobulambuzi Tom Butime agambye nti endagaano eno ettuukidde mu kiseera, nga Uganda eyongedde okusikiriza omuwendo gw’abalambuzi oguwa essuubi, oluvannyuma lwemyaka ebiri nga bisannyaladde olwómuggalo ogwaleetebwa Covid 19..
Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa Uganda Wildlife Authority Dr Pantaleon Kasoma asabye abaweereddwa obuvunaanyizibwa okuzimba bisulo bino, okukolera mu budde kyanguyize abalambuzi okuva ebweeru wa Uganda ne munda mu ggwanga okwegazaanyiza mu kkula lya Africa.
Jonathan Wright nga ye ssenkulu wa kampuni ya Wildplaces Africa agambye nti embeera yóbudde mu Uganda nnungi nnyo,era yeyasinga okubasikiriza okukolera muno emirimu.
Kampuni zombiri zawangula contract zamyaka 20 okukolera emirimu gyazo kuno, era nga gigenda kuba girondoolwa.