Bannamawulire abasaka ag’ebyemizannyo mu Uganda abegattira mu kibiina kya Uganda Sports Press Association USPA, balonze musaayi muto ow’omuzannyo gwa Table Tennis Jospeh Ssebatindira nga munnabyamizannyo asinze banne okukola obulungi omwezi oguwedde ogwa January 2024.
Joseph Ssebatindira okutuuka ku buwanguzi yawangula omudaali gwa zaabu mu mpaka za U13 ne U11 World Table Tennis Youth Championships ezaali e Qatar.
Amezze club ya Heathens eyawangudde empaka za Uganda Cup, club ya Nile Rapids eyawangudde ekikopo ky’abakazi ekya Uganda Cup ne ttiimu y’eggwanga eya Uganda Lady Rugby Cranes eyatuuse ku semifinal y’empaka za World Rugby HSBC Sevens Challenger Series e Dubai.
Mu mwezi ogwa December 2023, USPA eronze omukubi w’ebikonde John Sserunjogi olw’okuwangula omusipi gwa WBA Africa.
John Sserunjogi okutuuka ku buwanguzi amezze ttiimu ya Cricket ey’abakazi eya Victoria Pearls eyayitamu okukika mu mpaka za ICC Women’s T20 World Cup Global Qualifiers, ttiimu ya Ndejje University olw’okuwangula empaka za Inter University Games ne ttiimu ya Cricket Cranes olw’okweddiza empaka za Africa Cup ezaali e South Africa.
Mungeri yeemu USPA eronze ttiimu y’eggwanga eya Cricket Cranes nga esinze mu byemizannyo omwezi ogwa November olw’okukikka mu mpaka z’ensi yonna eza ICC T20 Men’s World Cup ezigenda okubeera mu West Indies ne America omwaka guno 2024, nga Cricket Cranes yakiise mu mpaka zino omulundi gwayo ogwasookedde ddala.
Cricket Cranes kungule y’omwezi ogwa November 2023, emezze City Oilers olw’okukiika mu mpaka za Africa eza BAL, Ceaser Chandiga olw’okuwangula empaka za National Men’s Pool Open Championships ne Lady Rugby Cranes olw’okuwangula empaka za Safari Sevens e Kenya.
Olukiiko lwa USPA olunze bannabyamizannyo bano lutudde Lugogo mu Kampala, nga lukubiriziddwa president Moses Alsayed Lubega, era USPA etuula buli bbalaza esooka mu mwezi.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe