Ekitongole ekiwooza ky’omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kiyimirizza engassi ebadde yateekebwa ku basuubuzi abadde tebatakozesa nkola ya EFRIS (Electronic Fiscal Receipting and Invoicing solution) , basooke basomesebwe.
Bino bijjidde mu kiseera ng’omukulembeze we ggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni gyebuvuddeko yasisinkana abasuubuzi mu ggwanga abaali bawakanya enkola eya EFRIS, nalagira enkola eno esigalewo wabula eyongere okusomebwa mu basuubuzi bajitegeere
Ssenkulu w’ekitongole kya URA John Musinguzi Rujoki abadde ku programme eya Kaliisoliiso ku CBS FM 88.8 n’agamba nti abasuubuzi bonna abatamanyi nkola eno bagenda kugibamosema okumala 2 bbiri, mu nkola etegekeddwa ku kitebe kya URA e Nakawa.
Enteekateeka eno ey’okusomesa abasuubuzi etandika nga 27 May,2024.
Enkola eno eya EFRIS yatongozebwa mu 2019, ekakata ku basuubuzi abasussa capital ow’obukadde 150m ne bannamakolero okugaba receipt eziyise mu byuma bi kalimagezi oba okukozesa essimu, ku bintu byebatunda.
Musinguzi mu ngeri yemu agambye nti bawandikidde parliament ya Uganda eddemu ekyuuse mu tteeka erifuga enkola ya EFRIS.
Omuntu abadde takozesa nkola eno abadde asasula engassi ya bukadde bwa shs 6, wabula bakizudde nti engassi eno nnene ku basuubuzi bagala ekendeezebweko.#