Eggye lya UPDF likakasizza nti liriko bamu ku bayeekera b’akabinja ka ADF berisse, nga bano be bamu kubatta abalambuzi mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth.
Abalambuzi abaattibwa baali bagalana abaali bagenE okuwummulako, okwali munnansi wa Bungereza nowa SouthAfrica, wamu ne munnauganda eyali abalambuza.
Okusinziira ku alipoota ya UPDF, Abajambula battiddwa eggye lyokumazzi ku nnyanja Muttanzige ku mwalo gwe Kayanja mu district ye Kasese.
Amyuka Omwogezi wa UPDF Lt Col Deo Akiiki ategeezezza nti ennumba ezaakoleddwa ku bajambula ba ADF bikoleddwa mu kiro, oluvannyuma lwa bambega ba UPDF okukola Okunoonyereza kwabwe, era nti balina n’ebikwekweto ebirala ebikyagenda mu maaso.
Emirambo gy’Abalambuzi abattibwa gikyali mu ddwaliro e Mulago, akadde konna gyakuzzibwa mu mawanga gyebaali basibuka.
Bisakiddwa: Kato Denis