UPDF erabudde bannauganda okwerinda abafere ababasaba ebiwandiiko byabwe nti n’ekigendererwa eky’okubawandiisa okwegatta ku ggye ly’eggwanga.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa UPDF nga kiteereddwako omukono gw’omwogezi Brig.Gen.Felix Kulaigye, mu kiseera kino eggye teririna nteekateeka yakuwandiisa bantu bagenda kulyegattako.
Agambye nti bafunye obubaka obulaga nti waliwo abafere abayita ku mutimbagano nga bayita abantu okwewandiisa begatte ku magye ga UPDF ekitali kituufu, n’abalabula obutawaayo bibakwatako okuyita ku mitimbagano egyo, nti byandikozesebwa mu ngeri enkyamu.#