Ababaka abatuula ku kakiiko ka parliament akalondoola emirimu egikolebwa mu bitongole bya government batadde ku nninga ekitongole ekivunanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authoroty (UNRA) okunnyonnyola ensonga eziremesezza oluguudo oluva e Masaka okudda e Mugukula okudaabirizibwa.
Ababaka bagamba nti parliament yayisa ensimbi eziwera akase kamu mu obuwumbi bitaano mu abiri (1.52 trn) okusobola okudaabiriza oluguudo olwo oluwezaako obuwanvu bwa kilomita 96.
Ssenkulu wa UNRA Allen kagina agambye nti ensimbi ezo baluddewo okuzifuna mu mpeke olwa African Development Bank gyezaalina okuva, yagaana okuddamu okuwola Uganda, so ng’ensimbi eziva munda mu ggwanga zikyali ntono.
Oluguudo luno lwakolebwa mu myaka gyav1960, okugatta Uganda ku Tanzania n’amawanga agaliranyeewo okutumbula eby’ensuubulagana.
Ababaka ba parliament bagamba nti eggwanga lifiirwa ensimbi nnyinhi ezaandivudde mu musolo olw’embeera embi oluguudo oluva e Masaka – Kyotera okutuuka e Mutukula.#