Ekitongole ekivunanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority kiragidde abagoba b’ebidduka ebitonotono okuddamu okukozesa oluguudo lwa Kampala –Masaka Highway.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ekitongole kya UNRA, ekitundu ky’olutindo olwómugga Katonga olwabbomoka kiwedde okuteereezebwa.kati emmotoka zikkiriziddwa okuddamu okuluyitako.
Wiiki 3 eziyise omugga Katonga gwabooga, amazzi negasalamu oluguudo.
Allan Ssempebwa akulira ebyémpuliziganya mu kitongole kya UNRA, agambye nti olutindo oluzimbiddwa lwakaseera era lwakugira nga lutambulirako ebidduka ebitono byokka, era zitandikiddewo okuluyitako.
Mu ngeri yeemu, olutindo lugguddwawo kitundu era n’asaba abagoba b’emmotoka okubeera abegendereza nga batuuse mu Katonga.
Ebidduka ebikkiriziddwa; pikipiki, emmotoka za buyonjo, taxi ezitikka abantu 14 ne coaster ezitasussa bantu 28.
Allan Ssempeebwa era ategezezza nti emmotoka ennene zakusigala nga zikozesa oluguudo lwa Mpigi-Kanoni-Maddu- Ssembabule – Masaka okutuusa nga bamaze okubaga enteekateeka ennene okuzimba olutindo olunene olusobola okutambuza ebidduka byonna.
Wabula agambye nti eky’okuzzaawo olutindo olwo kyakutwala ekiseera ekiwanvuko.
Bisakiddwa: Ssebuliba William