Ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda Roads Authority kiggadde oluguudo oluva e Hoima okuyita Kiboga okudda e Kampala, oluvannyuma lw’omugga Kafu okuwaguza nerusalamu oluguudo.
Omugga guno gusazeeko ekitundu ky’okuguudo ekiweza kilometer namba, ekireseewo okutya nti amazzi gayinza okutwala abantu.
Omugga guno gusaliddeko mu kitundu ekiyitibwa Kalongo, ku nsalo ya Bunyoro ne Buganda
Omwogezi wa UNRA Allan Ssempebwa agambye nti oluguudo luno luggaddwawo okutuusa ng’amazzi gakendedde, era tewali kidduka kikkirizibwa kusala.
Ab’ebidduka baweereddwa amagezi okukozesa oluguudo oluva e Hoima okudda e Masindi, Luweero okutuuka e Kampala.
Oba okukozeza oluguudo oluva e Hoima – Nalweyo- Kakumiro okudda e Mubende – Mityana – Kampala.#