• Latest
  • Trending
  • All
UNESCO ne government ya Uganda bisuubizza okuwa obukuumi obumala ku masiro g’e Kasubi

UNESCO ezizza amasiro g’e Kasubi ku lukalala lw’ebifo by’obuwangwa eby’enyumirizibwamu

September 12, 2023
Omuliro gukutte galagi e Lwengo –  emmotoka ezisoba mu 7 ziyidde

Omuliro gukutte galagi e Lwengo – emmotoka ezisoba mu 7 ziyidde

September 28, 2023
President Museven alagidde minister w’ebyensimbi okuddamu okwekenneenya amateeka agakwata ku bawozi b’ensimbi

President Museven alagidde minister w’ebyensimbi okuddamu okwekenneenya amateeka agakwata ku bawozi b’ensimbi

September 28, 2023
Okukomyawo abayeekera ba Lord’s Resistance Army 61 tekwabadde kwangu – minister Ssempijja

Okukomyawo abayeekera ba Lord’s Resistance Army 61 tekwabadde kwangu – minister Ssempijja

September 28, 2023
CHAN: Uganda eyagala kusooka kutegeka mpaka za CHAN 2024 ezeeko AFCON 2027

CHAN: Uganda eyagala kusooka kutegeka mpaka za CHAN 2024 ezeeko AFCON 2027

September 28, 2023
Entanda ya Buganda 2023  – etandika 09 October

Entanda ya Buganda 2023 – etandika 09 October

September 28, 2023

Omuliro gukutte Lotus Tower mu Kampala

September 28, 2023
Omubaka Francis Zzaake yagobwa mu bukyamu ku kifo kya commissioner wa parliament – kooti

Omubaka Francis Zzaake yagobwa mu bukyamu ku kifo kya commissioner wa parliament – kooti

September 28, 2023
Abayizi b’essomero ababadde bagenda okulambula e Jinja  bagudde ku kabenje

Abayizi b’essomero ababadde bagenda okulambula e Jinja bagudde ku kabenje

September 28, 2023
UCDA eggaddewo ebyuma by’emmwanyi e Kayunga – abasuubuzi balaajanye

UCDA eggaddewo ebyuma by’emmwanyi e Kayunga – abasuubuzi balaajanye

September 28, 2023
URA etaangaazizza ku nnyumba z’abapangisa ez’okusasulira omusolo – ezitaweza mitwalo 240,000/= sizaakusasula

URA etaangaazizza ku nnyumba z’abapangisa ez’okusasulira omusolo – ezitaweza mitwalo 240,000/= sizaakusasula

September 27, 2023
Kooti ekkiriza eyali Ssenkulu wa NSSF Byarugaba okuwaabira ssenkulu omuggya

Kooti ekkiriza eyali Ssenkulu wa NSSF Byarugaba okuwaabira ssenkulu omuggya

September 27, 2023
CAF ekkirizza Uganda – Kenya ne Tanzania okutegeka empaka z’ekikopo kya Africa 2027

CAF ekkirizza Uganda – Kenya ne Tanzania okutegeka empaka z’ekikopo kya Africa 2027

September 27, 2023
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

UNESCO ezizza amasiro g’e Kasubi ku lukalala lw’ebifo by’obuwangwa eby’enyumirizibwamu

by Namubiru Juliet
September 12, 2023
in Amawulire, BUGANDA, World News
0 0
0
UNESCO ne government ya Uganda bisuubizza okuwa obukuumi obumala ku masiro g’e Kasubi
0
SHARES
59
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Amasiro g’e Kasubi galangiriddwa nti gagiddwa ku lukalala lw’ebifo by’obuwangwa ebiri mu katyabaga, negazzibwa ku lukalala lw’ebifo eby’obuwangwa ebyenyumirizibwamu era ebisobola okulambulwa abalambuzi abava mu Uganda ne mu mawanga amalala.

Okulangirirwa kuno kubadde mu lukungaana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku byenjigiriza n’obuwangwa (UNESCO) olwa World Heritage Committee Olukubiririzibwa ssentebe Dr.Abdulelah Althokhais.

Olukungaana luno lugendereddwamu okuteesa ku ngeri y’okukuuma n’okunnyiza omugaso gw’ebifo ebyobuwangwa ebyenkizo naddala ebiri mu Africa nga bakozesa enkola za Technology ow’omulembe oluyindira mu Kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.

Amasiro g’e Kasubi gaali gaggyibwa ku lukalala luno mu mwaka gwa 2011 oluvannyuma lw’abatamanyangamba okugateekera omuliro ku lunaku lwa Tuesday 16 March,2010 ennyumba enkulu eya Muzibwazaalampanga  n’esaanawo.

Okuva olwo Obuganda bubadde bulwanagana okugazaawo.

Gyebuvuddeko Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyasisinkana abakungu okuva mu UNESCO abaali bakulembeddwamu Lazare Eloundou director wa UNESCO World Heritage Center, bwebaali bakamaliriza okulambula omulimu gw’okuzaawo amasiro wegutuuse, yabategeeza obwetaavu bw’okuggya amasiro ge Kasubi ku lukalala lw’ebifo ebiri mu katyabaga, gasobole okuddamu okusikiriza abalambuzi.

Muzibwazaalampanga bwafaanana mu 2023

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde mu lukungaana luno oluyindira e Riyadh nga , nategeeza nti amasiro ge Kasubi gazimbiddwa ku mutindo ogwetaagisa, wadde nga wakyaliwo obuvujjirizi obwenjawulo obwetaagibwa okutaanya ebintu ebitonotono ebikyasigalidde.

Muzibwazaaamppanga bweyali efaanana nga tanakwata muliro

Katikkiro agambye nti omulimu gwennyini ogw’okuzaawo amasiro gwatandika bulambalamba mu mwaka gwa 2013, ng’Obwakabaka bwa Buganda bukoleganira wamu ne government ya Uganda eyawakati, eya Japan, Norway n’ekitongole kya UNESCO.

 

Katikkiro agambye nti omulimu guno tegubadde mwangu olw’ebwetaavu bw’ebikozesebwa omuli ensimbi enkalu, abakozi ab’emirimu egy’ekikugu n’aby’obuwangwa (Wabulaakayole n’abalala) , ebikozesebwa omuli emmuli, essubi, ebinsambwe,enjulu,embugo n’ebirala.

 

Amasiro g’e Kasubi gaaterekebwamu ba Ssekabaka 4 okuli Muteesa I eyalamula Obwakabaka wakati wa 1835 ne  1884, Ssekabaka Mwanga II (1867-1903), Ssekabaka Daudi Chwa II (1896 -1939) ne Ssekabaka Muteesa II (1924-1969). Ssekabaka Muteesa yakisiza omukono mu buwanganguse mu Bungereza mu 1969, enjole ye nekomezebwawo mu Uganda mu 1971 neterekebwa mu masiro e Kasubi.

Jackline Nyiira Besigye akulira amakaddiyizo n’ebifo by’ennono mu Uganda era nga y’omu ku betabye mu lukungaana, agambye nti buno buwanguzi bwennyini bwebatuuseeko obwa UNESCO okuggya amasiro g’e Kasubi ku lukalala lw’ebifo ebiri mu katyabaga, nti kigenda kwongera okusikiriza abalambuzi okuva mu mawanga amalala n’okwongera ku nnyingiza y’eggwanga.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Omuliro gukutte galagi e Lwengo – emmotoka ezisoba mu 7 ziyidde
  • President Museven alagidde minister w’ebyensimbi okuddamu okwekenneenya amateeka agakwata ku bawozi b’ensimbi
  • Okukomyawo abayeekera ba Lord’s Resistance Army 61 tekwabadde kwangu – minister Ssempijja
  • CHAN: Uganda eyagala kusooka kutegeka mpaka za CHAN 2024 ezeeko AFCON 2027
  • Entanda ya Buganda 2023 – etandika 09 October

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist