Abayizi ba S.4 batandise wiiki ey’okubiri nga bakola ebigezo byabwe eby’akamalirizo (UCE), era ng’abawerako bataataganyiziddwamu enkuba ekedde okutonnya mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Ku monday nga 23 October,2023 batandise n’ekigezo kya Physics.
Ekitongole ky’ebigezo ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) kiweerezza ekibinja ekipya eky’abakuuma ebigezo bino, mu bifo byonna abayizi gyebatuulidde ebigezo.
Ssenkulu wa UNEB Dan Odongo agambye nti abaakuumye ebigezo mu wiiki eyasoose omulimu baagutambuzza bulungi,n’asaba ekibinja ekipya kyaweerezza mu masomero okukola omulimu gwe gumu bewale okwenyigira mu muze gw’okukoppera abayizi.#