Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ennambika eyenjawulo ku kibuuzo ky’olupapula lwa Physics owo’obwoleke, abayizi ba S.6 lwebagenda okukola ku Thursday nga 23 November,2023.
Mu kiwandiiko ekitereddwako omukono gwa ssenkulu wa UNEB, Dan Odong kiraze nti mu bibuuzo by’olupapula olwo olwa physics muzuuliddwamu ensobi, era nekirambiaa okugitereeza ng’abayizi bagenda okutuula olupapula olwo.
UNEB egamba nti tekyavunaanyizibwa ku nsobi eyo, era nti tebasuubira muntu kwekwasa nti UNEB yakoze ensobi kuba bategezeddwa mu budde okugitereeza.
Abayizi ba S.6 bakumaliriza ebigezo byabwe nga 1 December,2023.#