Alipoota ya UNEB eraze nti waliwo omuyizi aliko obulemu era ng’abadde n’obulwadde bwa Nnalubiri, afudde ng’akola ebigezo bye eby’akamalirizo.
Ekitongole kya Uganda National Examinations Board (UNEB) ekivunanyizibwa ku bigezo, kifulumizzaawo alipoota ekwata ku bayizi ba S.4 abawezezza wiiki enamba nga bakola ebigezo
Omuyizi omuwala eyafudde kigambibwa nti yasooka kugonda Wednesday nga 18 October, lweyakola olupapula lwokubala, kyokka nti nekigezo ekyokubiri ku lunaku olwo yakikolera mu kasenge k’abalwadde, era naweebwa amuyambako okuddamu ebibuuzo.
Embeera yeyongedde okuba obubi naddusibwa mu ddwaliro gyeyafiiridde.
UNEB era agamba nti waliwo omuwala mu ssomero erimu mu Kampala, eyabadde akola ebibuuzo nga muzito, olubuto lwamusimbye naddusibwa mu ddwaliro gyeyazaalidde omwana muwala.
Jennifer Kalule Musamba ayogerera UNEB, agambye nti waliwo naabayizi abalala abaakwatiddwa ku birowoolezebwa nti benyigidde mu kubba ebigezo, oluvannyuma lw’okusangibwa nga batandise okuddamu ebibuuzo by’e kigezo kya Biology ow’obwoleke, ate nga baabadde tebanawebaa mpapula zaabibuuzo.
Olunaku olwokutaano oljmomekkereza wiiki esoose ey’abayiz ba S.4 nga bakola ebibuuzo, bakeeredde mu lupapula lwa Physics ow’obwoleke olupapula olwokusatu, n’olupapula lw’okusiiga ebifaananyi olupapula olw’okubiri.
Bisakidp0dwa: Ddungu Davis