Ekibiina ky’amawanga amagatte ekirwanyisa akawuka ka mukenenya ki UNAIDs kirabudde Uganda eyolekedde okudda emabega mu nteekateeka y’okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya mu ggwanga, oluvanyuma lwomukulenbeze w’eggwanga okussa omukono ku tteeka eriwera omukwano ogwábantu abekikula ekimu.
UNAIDs esabye government ya Uganda eddemu yetegereze etteeka lino.
Ekitongole ki UNAIDS nga kiri wamu n’ekitongole ki US- Presidential Emergency Plan for Aids Relief (PEPFAR ) mu kiwandiiko kyebafulumizza oluvanyuma lwomukulembeze weggwanga okussa omukono ku tteeka lino, banyonyodde nti Uganda ebbanga lyonna ebadde etambula bulungi mu nteekateeka y’okulwanyisa ekirwadde Kya mukenya, era wabaddewo ebituukiddwako bingi ,wabula oluvanyuma lwokussa omukono ku tteeka lino, enteekateeka zonna zigenda kutaataagana.
Ekiwandiiso Kya UNAIDs ekiteereddwako omukono Ssenkulu wekitongole kino Winnie Byanyima, Peter Sands ssenkulu wa Global Fund ne Ambassador John Nkengasong omukwanaganya wenteekateeka za America ezokulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya banyonyodde nti etteeka lino liteeka obulamu bwabantu abeenyigira mu mukwano gwebikukujju ku bwerinde obwamaanyi olwebibonerezo ebikakali ebiririmu
Wadde tebanyonyodde ngeri etteeka eriwera ebisiyaga gyerigenda okutaataaganya enteekateeka zokulwanyisa mukenenya, bagambye nti oluvanyuma lw’etteeka lino okusibwaako omukono, kigenda kuziyisa abantu abeenyigira mu mukwano ogwebikukujju okwetaaya mu ggwanga.
Bannauuganda abali eyo mu 1,200,000 bebawangaala nakawuka ka mukenenya
Obuwumbi obusoba mu 900 bwebuweebwa Uganda mu nteekateeka y’okulwanyisa akawuka ka mukenenya n’endwadde endala.
Oluvanyuma lwa president okussa omukono ku tteeka eriwera obufumbo bwekikula ekimu, wabaluseewo obweralikirivu nti bannayuganda abawangaala nakawuka akaleta mu Kenenya bandisanga akaseera akazibu,olwensonga nti ensimbi zonna ezissibwa mu nteekateeka yokubalabirira ziva mu bagabirizi babuyambi.#