Akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission kalagidde goverment okuliyirira abantu abaatulugunyizibwa ebitongole by’eby’okwerinda nebirinyirira eddembe lyabwe.
Bino bivudde mu nteekateeka ekoleddwa akakiiko kano akatandiise okuwulira n’okuwa ensala mu misango bannauganda gyebaawaabira government, nga bagiranga okutulugunyizibwa n’okulinyirira eddembe lyabwe abebitongole ebikuuma ddembe mu ggwanga.
Akakiiko kano akulemberwa Sentebe Miriam Wangadya kawadde ensala mu misango 4 ne Kalagari government ng’eyita mu bitongole byayo okuli UPDF, Police nebirala okuliyirira abaatulugunyibwa.
Kalagidde nti bwebaba tebamatidde n’ensala eno balina eddembe okujulira mu nnaku 30.
Mu bawereddwa ensala mubaddemu Kyaterekera Grace alagiddwa okuliyirirwa obukadde 6 ,Kalule Francis ne Yiga Moses obukadde 11 buli omu .
Grace Kyaterekera asazeewo okujulira mu nsala y’akakiiko, ng’agamba nti emyaka 20 gyeyamala mu nkomyo ng’alangibwa obwemage, gyayonoona obulamu bwe bwonna.
Gino emisango egisaliddwa gyawulira eyali ssentebe wa akakiiko kano omugenzi Meddie Kaggwa
Ssentebe Wangadya ategezezza nti ensonga ebalwisizaawo okuwa ensala zino kwekuba nti ba memba b’akakiiko baali tebawera.
Emisango 50 gyegigenda okuwulirwa mu bbanga lya mwezi gumu, nga akakiiko kano kagenda kutuula mu bitundu ebyenjawulo okuli Central region, Soroti , Gulu ne Arua.
Ow’ebyamateeka mu kakiiko kano Aidah Nakiganda anyonyodde ku nsala nebiragiro bya kkooti yakakiiko kano, n’agamba nti emisango egimu tegiwuliddwa era bannyini gyo tebafunye mukisa gwakuliyirirwa olwabamu ku bannanyini misango obutabeerawo, abalala nga tebalina ndaga muntu, so n’abamu amannya obutakwatagana .
Akakiiko kano kalina emisangonegisoba mu 1700, nga n’egimu gyawabwa mu 20004.
Nga ku gino, akakiiko kasuubira okuwulira emisango 50 mu wiiki ssatu egijjam
Bisakiddwa: Betty Zziwa