Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa Cricket eya Uganda Cricket Cranes yegenda okuggulawo empaka za ICC Cricket World Cup Challenge League B, ng’ettunka ne Jersey.
Empaka zino zakuyindira wano mu Uganda okuva nga 14 okutuuka nga 28 June omwaka guno 2022,zakwetabwamu amawanga mukaaga.
Zakuzannyibwa mu bisaawe 2 ekya Lugogo Cricket Oval ne Kyambogo Grounds.
Kenya yakuzannya ne Bermuda, Hong Kong ettunke ne Italy n’abalala
Cricket Cranes egenda kweyambisa empaka zino okulwana okukiika mu mpaka zénsi yonna eza Cricket World Cup ezómwaka ogujja 2023 ezinabeera e India.
Empaka zino eza ICC Cricket World Cup Challenge League B ezigenda okubeera wano mu Uganda za luzannya lwakubiri.
Oluzannya olwasooka lwali mu Oman, ate nga oluzannya olusembayo olwókusatu lugenda kubeera mu Jersey okuva nga 28 July okutuuka nga 10 August omwaka guno 2022.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe