Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Rugby mu Uganda ekya Uganda Rugby Union, kizeemu okulonda Godwin Kayangwe nga president w’ekibiina kino ekisanja ekirala kya myaka 4.
Godwin Kayangwe okutuuka ku buwanguzi buno amezze Philip Kiboijana ku bululu 65 ku 8, n’weebwa ekisanja ekyokubiri.
Omubaka wa Omoro County Andrew Olulanya yalondeddwa nga omumyukawe, afunye obululu 57 naamegga abantu 2 okuli Cheman Salem ne Nathan Wasolo.
Eric Butime yalondeddwa ng’omumyukawe ku ludda olw’ebyekikugu ye amezze Zeno Ochieno ku bululu 49 ku 24.
Ssabawandiisi ye Peter Odongo, ow’ebyensimbi ye Kennedy Mulindwa, Prossy Nakakande yakiikirira abakyala ku lukiiko luno nabalala.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe