Bya Issah Kimbugwe
Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa Rugby eya Uganda Rugby Sevens esitukidde mu kikopo ky’empaka za Africa Rugby Men’s Sevens 2022.
Empaka zibadde ziyindira mu kisaawe kya Kyadondo Rugby Grounds e Lugogo mu Kampala.
Uganda Rugby Sevens ekubye Zimbabwe obugoba 26 – 00 mu luzannya olw’akamalirizo.
Uganda okutuuka ku luzannya olwakamalirizo esoose kukuba bamulirwana aba Kenya obugoba 22 – 12 ku luzannya olwa semifinals.
Ate nga Zimbabwe ekubye Zambia obugoba
26 – 17.
Uganda kati eyiseewo butereevu okuzannya mu kikopo ky’ensi yonna ekya Rugby World Cup Sevens ekigenda okubeera e South Africa.
Ekikopo kya world cup kitandika nga 9 okutuuka 11 September omwaka guno 2022.
Uganda Rugby sevens yetaba mu kikopo ky’ensi yonna mu mpaka ezasembyeyo mu 2018, zaali San Francisco mu America, yamalira mu kifo kya 19.
Mungeri yeemu Uganda era eyiseewo buterevu okuzannya mu mpaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Bungereza mu kibuga Birmingham.
Guno gugenda kubeera mulundi gwa 5 ogw’omudiringanwa nga Uganda Rugby sevens ekiika mu mpaka zino okuva mu 2006, 2010, 2014 ne 2018.
Empaka za Africa Rugby Men’s Sevens zetabidwamu ensi 14 era emizannyo gyonna gizanyiddwa mu kisaawe kya Kyadondo Rugby Grounds e Lugogo mu Kampala.