SC Villa Jogo Ssalongo eraze eryanyi mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, ekubye club ya Express mukwano gwabangi bwebatalima kambugu goolo 1-0.
Omupiira guno ogubaddeko n’obugombe guzannyidwa mu kisaawe e Wankulukuku.
Goolo ewadde Villa Jogo obuwanguzi eteebeddwa Charles Lwanga mu dakiika eya 21.
Obuwanguzi buno bututte Villa Jogo Ssalongo mu kifo kya 4 n’obubonero 33 okuva mu mipiira 18.
Express mukwano gwabangi esigadde mu kifo kya 8 n’obubonero 29 okuva mu mipiira 20.
Emipiira emirala, UPDF ekubye Busoga United goolo 2-0 mu kisaawe e Bombo.
NEC erumbye Gaddafi omwayo e Jinja n’egikubirayo goolo 1 – 0.#