Liigi ya babinywera eya Uganda Premier League egenda kuddamu okuzannyibwa n’emipiira 2 mu bisaawe ebyenjawulo oluvanyuma lw’okuwumulamu akumala akaseera, olwa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes ebadde mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu mpaka za World Cup wa 2026.
Omupiira ogusuubirwa okubaako embiranye gugenda kubeera wakati wa Vipers ng’ettunka ne URA mu kisaawe kya St Mary’s Kitende.
Omupiira gugenda kuzannyibwa ku mataala ku ssaawa 1 eyakawungeezi.
Vipers esuubirwa obutabeera nabazannyi okuli Yunus Ssentamu, Rogers Torach, Bright Anukan, Jack Komakech ne Milton Kaliisa, nga babadde mu Uganda Cranes mu World Cup qualifiers.
URA nayo esubirwa obutabeera ne Hudu Mulikyi.
Ensisinkano za liigi 22 ezisembyeyo URA ewanguddeko 7, Vipers 6, amaliri ga mipiira 9.
Omupiira omulala ogugenda okuzannyibwa kuliko ogwa Gaddafi ng’ettunka ne Bright Stars e Jinja kusaawa 10 ez’olweggulo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe